bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 50
Jeremiah 50
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 51 →
1
Ekigambo Mukama kye yayogera ekikwata ku Babbulooni, nga kifa ku nsi ey'Abakaludaaya ng'ayita mu Yeremiya nnabbi.
2
“Mwatulire mu mawanga, era mulangirire, musimbe ebendera era mulangirire; so temukikisa, nga mwogere nti, ‘Babbulooni kimenyeddwa, Beeri akwatiddwa ensonyi, Merodaaki akeŋŋentereddwa; ebifaananyi byakyo bikwatiddwa ensonyi, ebibumbe byakyo bikeŋŋentereddwa.’
3
Kubanga mu bukiikakkono evuddeyo eggwanga okukitabaala, lirifuula ensi ye amatongo, era tewaliba akibeeramu, byombi abantu n'ensolo, balikiddukamu.”
4
“Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda; balijjira wamu; nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe.
5
Balibuuza awali ekkubo erigenda e Sayuuni, n'amaaso gaabwe nga gaakitunulidde, nga boogera nti, ‘Mujje twegatte ne Mukama, mu ndagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.’ ”
6
“Abantu bange baabanga nga ndiga ezaabula, abasumba baabwe baabawabya, ne baabakyamiza ku nsozi, baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekisibo kyabwe.
7
Bonna abaabasanga babalidde, era n'abalabe baabwe ne boogera nti, ‘Tetulina musango, kubanga bo be basobezza Mukama, ensibuko y'obutuukirivu, Mukama, essuubi lya bajjajjaabwe.’
8
Mudduke muve wakati mu Babbulooni, muve mu nsi ey'Abakaludaaya, mube ng'embuzi ennume mu maaso g'ebisibo.
9
Kubanga, laba, nja kusiikuula era ndeete ku Babbulooni ekibinja ky'amawanga ag'amaanyi okuva mu bukiikakkono, era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; okuva eyo kiritwalibwa, obusaale bwabwe bulinga omulwanyi omukugu ataddira awo.”
10
Kale ensi y'Abakaludaaya erinyagibwa, era abo abaginyaga, balitwala buli kye baagala, bw'ayogera Mukama.
11
“Newakubadde nga musanyuse, newakubadde nga mujaguza, mmwe abanyaga obusika bwange, newakubadde nga muligita ng'ente enduusi ewuula omuddo, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi;
12
nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala. Laba ye aliba ow'enkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, ey'eddungu.
13
Olw'obusungu bwa Mukama, kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala; buli anaayitanga ku Babbulooni, anaasamaaliriranga n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna.
14
Musimbe ennyiriri okulwana ne Babbulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale, kubanga kyayonoona Mukama.
15
Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa, kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga, nammwe mukikole bwe mutyo.
16
Mumaleemu mu Babbulooni asiga ensigo, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu; olw'ekitala ky'omujoozi, buli muntu alidda mu bantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe.”
17
“Isiraeri ndiga ewabye; egobeddwa empologoma. Kabaka w'e Bwasuli ye yasooka okumukavvula; ate ne kaakano oluvannyuma Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni amenye amagumba ge.
18
N'olw'ekyo bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Laba, ndibonereza kabaka w'e Babbulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w'e Bwasuli.
19
Era ndikomyawo Isiraeri nate mu ddundiro lye, era aliriira ku Kalumeeri ne Basani, n'emmeeme ye erikkutira ku nsozi za Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20
Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya, naye nga tewali, n'ebibi bya Yuda, so tebirirabika, kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.’ ”
21
“Tabaala ensi y'e Merasayimu, era n'abo abali mu Pekodi. Otte era ozikiririze ddala n'abali emabega waabwe, bw'ayogera Mukama, okole byonna bwe biri bye nnakulagira.
22
Eddoboozi ery'entalo liri mu nsi, era n'ery'okuzikirira okunene.
23
Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babbulooni nga kifuuse ekitiisa mu mawanga!
24
Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ayi Babbulooni, so tewakimanya; olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama.
25
Mukama asumuludde etterekero ly'eby'okulwanyisa bye, era aggyeemu eby'okulwanyisa nga anyiize, kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya.
26
Mujje mukirumbe nga muva ku buli ludda, musumulule amawanika gaakyo; mukituume ng'abatuuma entuumu y'eŋŋaano, era mukizikiririze ddala, waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo.
27
Mutte ennume zaakyo zonna; muzireke ziserengete mu kuttibwa. Zizisanze! Kubanga olunaku lwazo lutuuse, olunaku olw'okubonerezebwako.
28
Wulira! badduka era ne batoloka okuva mu nsi y'e Babbulooni, okulangirira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa Yeekaalu ye.
29
Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babbulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyetooloola enjuyi zonna; waleme okuba n'omu aliwona mu kyo. Mwesasuze ng'omulimu gwakyo bwe gwali; era mukikole nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo bwe mukikolanga, kubanga kyeyisa n'amalala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri.
30
Abavubuka baakyo kyebaliva battirwa mu nguudo zaakyo, n'abasajja baakyo bonna abalwanyi balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.
31
Laba, ndi mulabe wo, ayi ggwe alina amalala, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye; kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakubonerereza.
32
Alina amalala alyesittala n'agwa, so tewaliba alimuyimusa; era ndikuma omuliro mu bibuga bye, era gulyokya bonna abamwetoolodde.”
33
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda banyigirizibwa, n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza, baganyi okubata.
34
Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye. Ye aliwoleza ddala ensonga yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babbulooni.
35
Ekitala kiri ku Bakaludaaya, bw'ayogera Mukama, ne ku abo bonna abali mu Babbulooni ne ku bakungu baamu, ne ku bagezigezi baamu.
36
Ekitala kiri ku balaguzi baalyoke basiruwale! Ekitala kiri ku balwanyi baakyo baalyoke bazikirizibwe!
37
Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe, ne ku magaali gaabwe, ne ku balwanyi bonna abapangise abali wakati mu kyo, baalyoke baafuke ng'abakazi! Ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa!
38
Ekyanda kikaliza amazzi gaamu, era galikalira! Kubanga nsi ya bifaananyi ebyole, era bibalalusizza.
39
Ensolo ez'omu nsiko kyezinaavanga zibeera n'empisi mu Babbulooni, era ne bamaaya banaabeeranga omwo; so tekiibeerengamu nate bantu ennaku zonna; so tekiituulwengamu emirembe n'emirembe.
40
Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo.
41
Laba, eggwanga liva e bukiikakkono; era ekika ekikulu, era bakabaka beetabula okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo.
42
Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja, era beebagala embalaasi; nga baasimbye ennyiriri ng'omusajja bweyetegeekera okulwana naawe, ggwe Babbulooni.
43
Kabaka w'e Babbulooni awulidde ettutumu lyabwe, emikono gye ne giddirira, obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala.
44
Laba ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu ebya Yoludaani, n'erumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bwe ntyo ndikibaddusamu mangu ago, era ndironda gwe ndyagala okubafuga. Kubanga ani afaanana nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange?
45
Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babbulooni; n'ebyo by'amaliridde okukola ensi ey'Abakaludaaya. Mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa; mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko.
46
Olw'eddoboozi ery'okuwamba Babbulooni ettaka likankana, n'okukaaba kwe kuwuliddwa mu mawanga.”
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 51 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52