bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 6
Jeremiah 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 7 →
1
Mudduke muwone, mwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, muwanike akabonero ku Besukakkeremu, kubanga obubi buva e bukiikakkono, n'okuzikirira okunene.
2
Omukkakkamu era eyakuzibwa n'obwegendereza, ndizikiriza omuwala wa Sayuuni.
3
Abasumba n'ebisibo byabwe balijja okumulumba; balisimba eweema zaabwe okumwetooloola, baaliriisa ebisibo byabwe, buli muntu mu kifo kye ye.
4
“Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulumbe mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bugenda, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi biwanvuwa.”
5
“Muyimuke tulumbe kiro, tuzikirize embiri ze.”
6
Kubanga Mukama ow'eggye ayogedde bw'ati nti, “Muteme emiti mutuume entuumo, ku Yerusaalemi. Kino kye kibuga ekiteekwa okubonerezebwa, kubanga temuli kirala wabula okunyigirizibwa mu kyo.
7
Ng'amazzi bwe gakulukuta okuva mu luzzi, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo; ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo.
8
Olabulwa ggwe Yerusaalemi, nneme okwawukana naawe; era nneme okukufuula amatongo, ensi omutali bantu.”
9
Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Kungulira ddala ng'omuzabbibu abasigaddewo mu Isiraeri, ng'omunozi w'ezabbibu, zza nate omukono gwo mu matabi gaagwo.”
10
Ani gwe mba njogera naye, era gwe nnalabula, alyoke awulire? Laba amatu gaabwe gagaddwa, era tebayinza kuwuliriza; laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.
11
Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okukizibiikiriza. “Ekiruyi kiyiwe ku baana abato mu luguudo, wamu ne ku bavubuka abakkuŋŋaanye. Bombi omusajja ne mukazi we balitwalibwa, omukulu n'omukadde ennyo.”
12
N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange, ne mbonereza bonna abali mu nsi, bw'ayogera Mukama.
13
“Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya.
14
Bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga emirembe tewali
15
Baakwatibwa ensonyi bwe baakola eby'emizizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaamanya na kuswala. N'olwekyo kyebaliva bagwira mu abo abagwa; mu kiseera kye ndibabonerezaamu, mmwe balisiguukululirwa;” bw'ayogera Mukama.
16
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo. Naye ne boogera nti, ‘Tetuutambulire omwo.’
17
Ne mbateekako abakuumi ne mbagamba nti, ‘Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere!’ Naye ne boogera nti, ‘Tetuuwulirize.’
18
Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiribatuukako.
19
Wulira, ggwe ensi; laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulirizza bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.
20
Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, oba emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tezinsanyusa.
21
Mukama kyava ayogera bw'ati nti,‘ Laba, nditeeka mu maaso g'abantu bano, enkonge ze bannesittalako; bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, muliraanwa n'owo mukwano balizikirira.’ ”
22
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiikakkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi.
23
Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liringa okuwuuma kw'ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala, ng'omusajja bw'atalira olutalo, era beetegese okulwana naawe, ayi omuwala wa Sayuuni!”
24
Tuwulidde ettutumu lyalyo; emikono gyaffe ne ginafuwa, obubalagaze butukutte era n'okulumwa ng'omukazi alumwa okuzaala.
25
Temugenda mu ttale, wadde okutambulira mu kkubo; kubanga eriyo ekitala eky'omulabe n'entiisa enjuyi zonna.
26
Ayi omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu; kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omuzikiriza alitujjira nga tetumanyiridde.
27
“ Nkufudde agezesa ebyuma, abantu bange balinga ebyuma; obagezese olyoke omanye, era okeme ekkubo lyabwe.
28
Bonna bajeemu abatalabwa, era batambula nga bawaayiriza; bagumu nga ebikomo oba ebyuma; bonna bakola bikyamu.
29
Omuliro gwaka nnyo mu kabiga, ekyuma ne kisaanuuka, naye ebiteetaagibwamu tebyesengejjamu, bateganira bwereere okulongoosa, kubanga ababi tebasimbulibwawo.
30
Baliyitibwa masengere ga ffeeza, kubanga Mukama abagaanyi.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52