bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 10
Jeremiah 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 11 →
1
Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe mmwenna ennyumba ya Isiraeri,
2
bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Temuyiganga mpisa za mawanga malala, so temweraliikiriranga bubonero bwa ku ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira.
3
Kubanga empisa ez'amawanga, nkyamu. Omuti okuva mu kibira gutemebwa, era ne gukolebwako n'embazzi, n'omukono gw'omukozi.
4
Abasajja baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana.
5
Ebifaananyi byabwe bifaanana obufaananyi obukanga obuteekebwa mu nnimiro era tebyogera, basitula bisitule kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.”
6
Tewali afaanana ggwe, ayi Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu, lya buyinza.
7
Ani atandikutidde, ayi Kabaka w'amawanga? Kubanga kukugwanira ggwe; kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe.
8
Naye bo bonna wamu tebategeera era basirusiru; bayinza kuyigira ki ku bifaananyi byabwe eby'emiti?
9
Ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu, abakugu; babyambaza kaniki n'olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gw'abasajja abakalabakalaba.
10
Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo. Ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe.
11
Bwe muti bwe muba mubagamba nti, “Bakatonda abataakola ggulu na nsi, abo balibula era balizikirizibwa okuva mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.”
12
Ye yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe;
13
Bw'aleeta eddoboozi lye, ne waba oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
14
Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole; kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo.
15
Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba; mu kiseera eky'okubonerezebwa kwabyo birizikirira.
16
Obutafaanana ebyo ye gwe mugabo gwa Yakobo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe, Mukama w'eggye lye linnya lye.
17
Kuŋŋaanya ebintu byo okuva ku ttaka, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa.
18
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi, ne mbaggyamu mu biro bino, era ndireeta okunyolwa kubo balyoke bakuwulire.”
19
Zinsanze olw'ekiwundu kyange! Ekiwundu kyange kinnuma nnyo, naye ne njogera nti, “Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.”
20
Eweema yange ezikiriziddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse; abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo; tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okussaawo entiimbe zange.
21
Kubanga abasumba basirusiru, so tebabuuzizza Mukama; kyebavudde balema okulaba omukisa, n'ebisibo byabwe byonna bisaasaanye.
22
Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiikakkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe.
23
Ayi Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini; tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.
24
Ayi Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.
25
Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo; kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde era bamumize, bamumazeewo, bazisizza ekifo mw'abeera.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52