bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 46
Jeremiah 46
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 47 →
1
Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi nga kikwata ku mawanga.
2
Ebya Misiri, ebikwata ku ggye lya Falaawoneko kabaka w'e Misiri eryali ku lubalama lw'omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni lye yawangula mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda.
3
“Muteeketeeke akagabo n'engabo era musembere okulwana!
4
Muteeke amatandiiko ku mbalaasi, mulinnye mmwe abeebagala embalaasi! Muyimirire mu bifo byammwe nga mulina enkuufiira, muzigule amafumu gammwe, mwambale ebizibawo eby'ebyuma!
5
Lwaki nkirabye? Bakeŋŋentereddwa, bazze emabega; abalwanyi baabwe baakubiddwa, era badduse mbiro, so tebatunula mabega, entiisa eri ku njuyi zonna! bw'ayogera Mukama.
6
Ab'embiro tebayinza kudduka, so n'abalwanyi tebasobola kutooloka! Mu bukiikakkono ku lubalama lw'omugga Fulaati, beesitadde bagudde.”
7
“Ani ono asituka nga Kiyira, ng'emigga egy'amazzi agaalaala?
8
Misiri yasituka nga Kiyira, ng'emigga egy'amazzi agaalaala; Misiri yagamba nti, N'agolokoka, nabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ebibuga n'abo ababituulamu.
9
Mulumbe mmwe embalaasi, mutomere mmwe amagaali! Mmwe abalwanyi abazira mufulume, abasajja abe Kuusi ne Puti abakwata engabo; abasajja ab'e Luudi abakugu mu kunaanula omutego.
10
Kubanga olunaku olwo, lunaku lwa Mukama, Mukama w'eggye, olunaku olw'okuwalanirako eggwanga, awalane eggwanga ku balabe be; n'ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta, kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina ssaddaaka gy'asalira mu nsi ey'obukiikakkono ku lubalama lw'omugga Fulaati.
11
Yambuka e Gireyaadi, otwale eddagala, ggwe omuwala wa Misiri atamanyi musajja! Onywera bwereere eddagala ery'engeri ennyingi; tewaliba kuwona gyoli.
12
Amawanga gawulidde okuswala kwo, n'ensi ejjudde okukaaba kwo; kubanga omulwanyi, yeesittadde ku mulwanyi munne, era bagwiridde wamu bombi.”
13
Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi ebikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni okulumba Misiri.
14
“Mukibuulire mu Misiri, era mulangirire mu Migudooli, era mulangirire mu Noofu ne Tapanesi, nga mwogera nti, Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; okwetaasa kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna.
15
Lwaki Apiisi adduse? Lwaki ennume eyo teyayimirira? Kubanga Mukama yaabasuula wansi.
16
Abammwe bangi beesittadde ne bagwa, era buli omu n'agamba munne nti, ‘Situka tuddeyo eri abantu ab'ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu, tuwone ekitala ky'omujoozi.’
17
Yita Falaawo kabaka w'e Misiri, erinnya nti, ‘Luyoogaano buyoogaano; Eyasubwa omukisa gwe.’
18
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye, mazima nga Taboli bwali mu nsozi, era nga Kalumeeri ku lubalama lw'ennyanja, bw'alijja bw'atyo.
19
Mmwe abantu b'e Misiri, mweesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era eddungu omutabeera bantu.
20
Misiri nte nduusi nnungi nnyo; naye erumiddwa ekivu ekivudde mu bukiikakkono.
21
N'abalwanyi be abapangise abali wakati we bali ng'ennyana ez'omu kisibo; kubanga nabo bazze emabega, baddukidde wamu, tebaayimirira; kubanga olunaku olw'okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, kye kiseera eky'okubonerezebwa kwabwe.
22
Avaamu eddoboozi ng'ery'omusota ogudduka; kubanga abalabe be batambula n'amaanyi, ne bamutabaala nga balina embazzi, ng'abo abatema emiti.
23
Balitema ekibira kye, bw'ayogera Mukama, newakubadde nga kikwafu nnyo, kubanga basinga enzige obungi, so tebabalika.
24
Omuwala wa Misiri alikwatibwa ensonyi; aliweebwayo mu mukono gw'abantu ab'omu bukiikakkono.”
25
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ayogera nti, “Laba, ndibonereza Amoni ow'e No, ne Falaawo, ne Misiri ne bakatonda be ne bakabaka be; Falaawo n'abo abamwesiga,
26
era ndibagabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'abaddu be. Oluvannyuma, Misiri erituulwamu abantu, nga bwe kyali mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama.
27
“Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, era n'ezzadde lyo okuva mu nsi ey'obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo mu nsi ye, era alibeera mirembe, nga ali bulungi, so tewaliba amutiisa.
28
Totya ggwe, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe; ndizikiriza amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.”
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 47 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52