bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 23
Jeremiah 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 24 →
1
“Zisanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange!” Bw'ayogera Mukama.
2
N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, ebikwata ku basumba abaliisa abantu bange nti, “Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama.
3
Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala ne beeyongera.
4
Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa, kale nga tebakyabatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba n'omu alibula,” bw'ayogera Mukama.
5
“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alisala emisango n'obwenkanya n'obutuukirivu mu nsi.
6
Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mu mirembe. Era lino lye linnya lye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.”
7
“N'olwekyo laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga abasajja tebakyayogera nate nti, Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;
8
naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu nsi zonna gye yabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo.”
9
Ebikwata ku bannabbi; omutima gwange gumenyese munda yange, amagumba gange gonna gakankana; nninga omutamiivu, era ng'omuntu awanguddwa omwenge; ku lwa Mukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu.
10
Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'ekikolimo kino ensi ekungubaga, era n'amalundiro ag'omu ddungu gakaze. Entambula yaabwe mbi, n'amaanyi gaabwe si malungi.
11
“Kubanga nnabbi era ne kabona boonoonefu; weewaawo, ndabye ebibi bye bakola mu nnyumba yange,” bw'ayogera Mukama.
12
N'olwekyo amakubo gaabwe galiba gyebali ng'obukubo obw'obuseerezi mu kizikiza, omwo mwe balisindikibwa era mwebaligwira; kubanga ndibaleetako obubi mu mwaka mwe balibonererezebwa, bw'ayogera Mukama.
13
Era ndabye obusirusiru ku bannabbi ab'e Samaliya; boogera mu linnya lya Baali ne bakyamya abantu bange Isiraeri.
14
Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne bawagira abo abakola ebibi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe, bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga abe Ggomola.
15
N'olwekyo Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebikwata ku bannabbi nti, “Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa, kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna.”
16
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi ababagamba ebigambo; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa, boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so tekuvudde mu kamwa ka Mukama.
17
Bagamba abo abannyooma olutata nti, Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; era neri buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira.”
18
Kubanga ani ku bo eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere era awulire ekigambo kye? Ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira?
19
Laba, kibuyaga wa Mukama! Ekiruyi kye kifulumye, kibuyaga w'akazimu, akuntira ku mutwe gw'ababi.
20
Obusungu bwa Mukama tebulikka okutuusa lw'alimala okutuukiriza, n'okukomekkereza omutima gwe bye gumaliridde okukola, mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala.
21
“Saatuma bannabbi abo, naye ne badduka mbiro ne bagenda n'obubaka, ssaayogera nabo, naye ne boogera mu linnya lyange.
22
Naye singa baayimirira mu kuteesa kwange, kale bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi, n'ebikolwa byabwe ebibi.”
23
“ Nze ndi Katonda ali okumpi, bw'ayogera Mukama, so siri Katonda ali ewala.
24
Waliwo ayinza okwekweka mu bifo eby'ekyama ne simulaba? Sijjula ggulu n'ensi? Bw'ayogera Mukama.
25
Mpulidde bannabbi bye boogedde, aboogera eby'obulimba mu linnya lyange, nga boogera nti, Ndoose, ndoose!
26
Bulituusa wa obulimba mu mitima gya bannabbi aboogera eby'obulimba; era aboogera ebikyamu bye bagunja mu mutima gwabwe bo?
27
Era balowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe, buli muntu byabuulira munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.
28
Nnabbi aloota ekirooto alootoolorenga ekirooto, n'oyo afunye ekigambo kyange akyogerenga n'obwesigwa. Ebisusunku birina kye bifaananya n'eŋŋaano?” Bw'ayogera Mukama.
29
Ekigambo kyange tekifaanana muliro? Bw'ayogera Mukama; era tekifaanana ne nnyondo eyasaayasa olwazi?
30
“Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne.
31
Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti, Mukama ayogera.
32
Laba, ndi mulabe w'abo aboogera ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu, naye nga saabatuma so saabalagira; era tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama.”
33
“Singa omu ku bantu bano, oba nnabbi, oba kabona bwe balikubuuza nga boogera nti,‘ Omugugu gwa Mukama kye ki?’ Kale n'obagamba nti, ‘Ggwe mugugu eri Mukama era agenda kukusuula eri!’ bw'ayogera Mukama.
34
Era ku bannabbi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye.
35
Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne, na buli muntu muganda we nti, ‘Mukama azzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’
36
Naye ‘Omugugu gwa Mukama,’ temuddangayo okugwogerako nate, kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwannyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye, era Katonda waffe.
37
Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti, ‘Mukama akuzzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’
38
Naye bwe mulyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama;’ Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mwogera ekigambo ekyo nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ nange mbatumidde nga njogera nti, ‘Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama;’
39
n'olwekyo, laba, ndibasitula era n'embasulira ddala okuva mu maaso gange, mmwe era n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe,
40
era ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo n'ensonyi, n'okunyoomebwa ebitalivaawo ebitalyerabirwa.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52