bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 27
Jeremiah 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
1
Ku ntandikwa y'obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti,
2
Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti, “Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo;
3
oweereze ekigambo eri kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemi okulaba Zeddekiya kabaka wa Yuda.
4
Balagire ebigambo bino eby'okutwalira bakama baabwe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Mugambe bakama bammwe nti,
5
Nze olw'obuyinza bwange obungi, n'omukono ogugoloddwa, nnakola ensi, n'abantu, n'ensolo ebiri ku nsi; era ngiwa oyo gwe nsiima.
6
Era kaakano ensi zino zonna nziwadde Kabaka Nebukadduneeza, kabaka w'e Babbulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo zonna ez'omu nsiko okumuweerezanga.
7
N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nnategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu ne balyoka naye bamufuula omuddu.”
8
“Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babbulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe.
9
Naye mmwe temuwulirizanga bannabbi bammwe, newakubadde abafumu bammwe, newakubadde abaloosi, abalaguzi, oba abasamize bammwe ababagamba nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni.’
10
Kubanga bya bulimba bye babalagula, n'ekirivaamu mulitwalibwa wala n'ensi yammwe, ndigibagobamu, era mulizikirira.
11
Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.”
12
Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti, “Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.
13
Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde ku ggwanga lyonna eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babbulooni?
14
So temuwulirizanga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba.
15
Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagula bya bulimba mu linnya lyange; n'ekirivaamu nja kugibagobamu era mulizikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.”
16
Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti, ‘Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba.
17
Temubawulirizanga; naye muweereze kabaka w'e Babbulooni, mulyoke mubeere abalamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo?
18
Naye bwe baba nga bannabbi ddala, era n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okutwalibwa e Babbulooni.
19
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, ebikwata ku mpagi, ne tanka, n'ebikondo by'ebinaabiro, n'eby'entebe, n'eby'ebintu ebirala ebyasigala mu kibuga kino,
20
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni by'ataatwala bwe yatwala mu buwaŋŋanguse Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babbulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi;
21
weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ku bikwata ku bintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti,
22
biritwalibwa e Babbulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira, bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbiggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52