bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 48
Jeremiah 48
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 49 →
1
Ebikwata ku Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Zisanze Nebo! Kubanga kizikiriziddwa; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa; ekigo kyakyo kikwasibbwa ensonyi, era kisuliddwa.
2
Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo. Mu Kesuboni mwe bakiteesereza obubi, ‘Mujje tukimalewo kireme okuba eggwanga!’ Era naawe Madumeni, ayi olisirisibwa; ekitala kirikucocca.
3
Wulira! okukaaba okuva e Kolonayimu, ‘Okunyaga n'okuzikiriza okunene!’
4
Mowaabu azikiridde; okukaaba kuwuliddwa okutuukira ddala e Zowaali.
5
Kubanga awayambukirwa e Lukisi, bagenda nga bakaaba amaziga; kuba awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde okukaaba okw'okuzikirira.
6
Mudduke! muwonye obulamu bwammwe, mufaanane ng'endogoyi ey'omunsiko mu ddungu.
7
Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, ogenda kutwalibwa; ne Kemosi alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be.
8
Omuzikiriza alituuka mu buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era ekiwonvu kirisanyizibwawo n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera.
9
Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke agende; ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali atuulamu.
10
Akolimiddwa oyo akola omulimu gwa Mukama ng'atenguwa, era akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.
11
Mowaabu bulijjo abadde mu mirembe, tebatwalibwangako mu busibe. Balinga omwenge gwe batasengezze ebbonda lyagwo, nga teguttululwa kuva mu kita okudda mu kirala, obuwoomi bwagwo ne butayonooneka n'akatono, n'akawoowo kagwo, ne kasigala nga kalungi.
12
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe nditumira abo abattulula, kale balimuttulula, era balimalamu ebintu bye, ne bamenyamenya ensuwa ze.
13
Kale Mowaabu alikwatirwa Kemosi ensonyi, ng'ennyumba ya Isiraeri bwe baakwatirwa Beseri ensonyi, gwe baali beesiga.”
14
Mwogera mutya nti, “Tuli basajja ba maanyi era abazira mu kulwana?
15
Omuzikiriza wa Mowaabu n'ebibuga bye, azze, era n'abalenzi be abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
16
Obuyinike bwa Mowaabu bunaatera okutuuka, n'ennaku ze zanguwa mangu.
17
Mumukungubagire mmwe mwenna abamwetoolodde, nammwe mwenna abamanyi erinnya lye; mwogere nti, ‘Omuggo ogw'amaanyi nga gumenyese, oluga olulungi!’
18
Serengeta ove mu kitiibwa kyo, era otuule mu nfuufu gwe atuula mu Diboni! Kubanga omuzikiriza wa Mowaabu atuuse, azikirizza ebigo byo eby'amaanyi.
19
Yimirira ku mabbali g'ekkubo okette, gwe abeera mu Aloweri! Buuza omusajja adduka, era n'omukazi awona, oyogere nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20
Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese; wowoggana okaabe! Mukibuulire mu Alunoni, nti, Mowaabu ezikiriziddwa.
21
Omusango gumaze okusalirwa ebibuga by'omu museetwe: Koloni, Yaza, ne Mefaasi;
22
Diboni, Nebo ne Besudibulasayimu;
23
Kiriyasayimu, Besugamuli ne Besumyoni;
24
Keriyoosi ne Bozula ne bibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n'ebiri okumpi.
25
Amaanyi ga Mowaabu gamenyese, obuyinza bwayo buzikiridde, bw'ayogera Mukama.”
26
“Mutamiize; kubanga yeegulumiriza ku Mukama; olwo Mowaabu alyoke yekulukuunye mu bisesemye bye, era naye alisekererwa.
27
Isiraeri teyali wa kusekererwa gyoli? Yaasangibwa babbi? Era nga buli lw'omwogerako omunyenyeza omutwe?”
28
Muve mu bibuga, mutuule mu mayinja; mmwe abatuula mu Mowaabu! mufaanane kaamukuukulu akola ekisu kye mu njatika z'amayinja.
29
Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe.
30
Mmanyi obusungu bwe, bw'ayogera Mukama, okwenyumiririza kwe kwa bwereere; ebikolwa bye temuli nsa.
31
Kyennaava nkungubagira Mowaabu; weewaawo n'akabira Mowaabu yenna, era abasajja ab'e Kirukeresi mbakabira.
32
Okusinga ne Yazeri, nkukaabira gwe omuzabbibu ogw'e Sibuma! Amatabi go gaayita ku nnyanja, ne gaatuukira ddala e Yazeri; naye omuzikiriza agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa byo.
33
N'essanyu n'okujaguza biggyiddwa ku nnimiro engimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero, tewakyali asogola mwenge, ng'aleekaana; olw'essanyu.
34
Ab'e Kesuboni ne Ereyale bakuba ebiwoobe ne biwulirwa okutuuka e Yakazi. Biwulirwa n'ab'e Zowaali era ne mu Kolonayimu, ne mu Egulasuserisiya; kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago gakalidde.
35
Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane.
36
N'olw'ekyo omutima gwange gukungubagira Mowaabu ng'emirere gy'abasajja ab'e Kirukeresi, bw'ebutyo obugagga bwe bafuna buzikiridde.
37
“ Kubanga buli mutwe gumwereddwa era n'abuli kirevu kimwereddwa; ku mikono gyonna kuliko emisale, era ne mu biwato mulimu ebibukutu.
38
Ku ntikko ze nnyumba zonna eza Mowaabu, ne mu nguudo zaayo zonna waliwo okukungubaga; kubanga njasizza Mowaabu ng'ekibya ekitalina akifaako, bw'ayogera Mukama.
39
Nga kimenyeddwa! Nga bakungubaga! Nga Mowaabu akyusizza enkoona n'ensonyi! Bw'atyo Mowaabu afuuse kusekererwa era ekitiisa eri abo bonna abamwetoolodde.”
40
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, alibuuka ng'empungu era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu.
41
Ebibuga biritwalibwa n'ebigo biriwambibwa. Omutima gw'abalwanyi ba Mowaabu guliba ku lunaku olwo, ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.
42
Era Mowaabu alizikirizibwa, obutaba ggwanga, kubanga yeegulumiriza ku Mukama.
43
Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe atuula mu Mowaabu! bw'ayogera Mukama.
44
Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika. Kubanga ndireeta ebintu bino ku Mowaabu mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe, bw'ayogera Mukama.
45
Mu kisiikirize kye Kesuboni, abadduka bayimirira nga baweddemu amaanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, n'ennimi z'omuliro zivudde mu nnyumba ya Sikoni, era gwokezza ensonda za Mowaabu, n'engule y'abantu abasobeddwa.
46
Zikusanze ggwe, Mowaabu! Abantu ba Kemosi bazikiridde; kubanga batabani bo batwalibbwa nga basibe, ne bawala bo batwalibbwa mu busibe.
47
Naye ndikomyawo emikisa gya Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu gukoma wano.
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 49 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52