bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 18
Jeremiah 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 19 →
1
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama,
2
“Situka oserengete mu nnyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwulizisa ebigambo byange.”
3
Awo ne nserengeta eyali ennyumba ey'omubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga.
4
Awo ekintu kye yabumbanga bwe kyayonoonekeranga mu mukono gw'omubumbi, yaddiranga ebbumba, n'abumbamu ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiimanga.
5
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja gyendi nga kyogera,
6
“Ayi ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? Bwayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ayi ennyumba ya Isiraeri.
7
Singa mba njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza;
8
naye eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.
9
Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okulizimba n'okulisimba;
10
naye bwe lirikola obubi mu maaso gange, ne batawulira ddoboozi lyange, kale ndikyusa obulungi bwe nnayogera okubakola.
11
Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, ‘Laba, nteesa obubi ku mmwe era nteeketeeka okubabonereza, mukomewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.’”
12
“Naye bo ne boogera nti, ‘Tewali ssuubi! kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.’ ”
13
“N'olwekyo bwati bwayogera Mukama nti, Mubuuze nno mu mawanga, oba eriyo eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo? Omuwala wa Isiraeri atamanyi musajja akoze ekigambo eky'ekivve ennyo.
14
Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? Amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira?
15
Kubanga abantu bange banneerabidde, booterezza ba katonda obubaane; beesittadde mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, ne batambulira mu mpenda, ne mu kkubo eritali ssende;
16
okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.
17
Nga embuyaga eziva ebuvanjuba, ndibasaasaanya mu maaso g'abalabe baabwe. Nditunuulira amabega gaabwe so si mu maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.”
18
Awo ne balyoka boogera nti, “Mujje tusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi. Mujje tumukube n'olulimi era tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu.”
19
Ssaayo omwoyo gyendi, ayi Mukama, owulire okwegayirira kwange.
20
Obubi bulisasulwa olw'obulungi? Naye basimye obunnya olw'obulamu bwange. Jjukira bwe nnayimiriranga mu maaso go, okuboogerera ebirungi, okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.
21
Kale waayo abaana baabwe bafe enjala, obagabule eri obuyinza bwe kitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo.
22
Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina kya banyazi nga tebamanyiridde; kubanga basimye obunnya okunsuulamu, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.
23
Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go, naye basuulibwe mu maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52