bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 43
Jeremiah 43
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 44 →
1
Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonna ebya Mukama Katonda waabwe, Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gyebali;
2
awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mutabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba, Mukama Katonda waffe takutumye kwogera nti, ‘Temugenda Misiri okubeera eyo;’
3
naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuwendulidde okutugabula mu mukono gw'Abakaludaaya balyoke batutte, oba batutwale e Babbulooni nga tuli basibe.”
4
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okusigala mu nsi ya Yuda.
5
Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda, abaafikkawo abaali bakomyewo okubeera mu Yuda, okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde;
6
abasajja, n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa gwe yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya;
7
ne bayingira mu nsi ye Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama, ne batuuka e Tapanesi.
8
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya e Tapanesi nga kyogera nti,
9
“Twala mu mikono gyo amayinja amanene, ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, nga abasajja ba Yuda balaba;
10
obagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, omuddu wange, ne nteeka entebe, ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go.
11
Era alijja n'akuba ensi y'e Misiri; ab'okuttibwa baliweebwayo eri okuttibwa, n'ab'obusibe eri obusibe, n'ab'ekitala eri ekitala.
12
Era alikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe, era alirongoosa ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'alongoosa ekyambalo kye, okukiggyamu obuwuka, era alivaayo mirembe.
13
Era alimenya empagi ez'e Besusemesi ekiri mu nsi y'e Misiri; n'ennyumba za bakatonda b'e Misiri zonna alizookya omuliro.’ ”
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52