bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 12
Jeremiah 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 13 →
1
Oli mutuukirivu, ayi Mukama, ne bwe nkwemulugunyiza, naye era nnandibadde mpoza ensonga yange mu maaso go. Lwaki ekkubo ery'ababi liraba omukisa? Lwaki abalimbalimba bakulakulana?
2
Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi ne bamera; weewaawo, ne babala n'ebibala; oli kumpi na kamwa kaabwe, naye oli wala n'emitima gyabwe.
3
Naye ggwe, ayi Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli. Basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirwako.
4
Ensi erituusa wa okuwuubala, era omuddo gwonna ogw'oku ttale ne guwotoka? Kuba olw'obubi bw'abo abagirimu, ensolo n'ennyonyi kyeziva zimalibwawo; kubanga abasajja bagamba nti, “Katonda taliraba nkomerero yaffe.”
5
“Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere, naye ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? Oba mu nsi ey'emirembe ogudde, olikola otya mu bibira bya Yoludaani?
6
Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyerimbye; bonna bakukabirira, tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.”
7
“Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange, mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be.
8
Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira, anyimusirizaako eddoboozi lye; kyenvudde mmukyawa.
9
Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? Ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye.
10
Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu.
11
Bagufudde matongo; guwuubala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissako mwoyo.
12
Abanyazi batuuse ku ntikko ze nsozi zonna enjereere ez'omu ddungu; kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi, tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe.
13
Basiga eŋŋaano, naye bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasiddwa, era balikwatibwa ensonyi olw'ebikungulwa byabwe, olw'obusungu bwa Mukama.”
14
Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bikwata ku baliraanwa bange bonna ababi abakwata obusika bwe nawa abantu bange Isiraeri okubusikira nti, “ Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula n'ennyumba ya Yuda wakati mu bo.
15
Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
16
Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, n'okulayira erinnya lyange nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu;’ era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.
17
Naye eggwanga lyonna bwe litalikkiriza kuwulira, awo ndirisimbulira ddala, era ne ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52