bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 5
Jeremiah 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 6 →
1
Mudduke eruuyi n'eruuyi mu nguudo e'ze Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale nnaakisonyiwa.
2
Era wadde boogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu,” naye mazima balayira bya bulimba.
3
Ayi Mukama, amaaso go tegatunuulira mazima? Obakubye, naye ne batanakuwala; obamazeewo, naye bagaanyi okubuulirirwa; bakakanyazizza obwenyi bwabwe okukira olwazi; bagaanyi okudda okwenenya.
4
Awo ne njogera nti, “Mazima bano baavu, basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde amateeka ga Katonda waabwe.
5
N'agenda eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'amateeka ga Katonda waabwe. Naye bonna awamu bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba.
6
Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta, omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga; kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde.”
7
“ Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda. Bwe nnabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi nga bali mu bibinja.
8
Baali ng'embalaasi ezaaliisibwa obulungi, buli muntu ng'akayanira mukazi wa munne.
9
Siribabonereza olw'ebyo?” Bw'ayogera Mukama, “era siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?”
10
“Muyite wakati mu mizeyituuni gye, mugizikirize, naye temugimalirawo ddala; muggyeewo amatabi gaagyo, kubanga si ga Mukama.
11
Kubanga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bankuusizzakuusizza nnyo nnyini, bw'ayogera Mukama.
12
Beegaanyi Mukama ne boogera nti, ‘Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala newakubadde enjala.
13
Bannabbi balifuuka mpewo, so nga n'ekigambo tekiri mu bo, bwe batyo bwe balikolebwa.’ ”
14
Mukama Katonda ow'eggye kyava ayogera nti, “Kubanga boogedde ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano okuba enku, era gulibookya.
15
Laba, ndireeta ku mmwe eggwanga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama, ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko lulimi, so totegeera bye boogera.
16
Omufuko gwabwe ntaana eyasaamiridde, bonna basajja ba maanyi.
17
Era balirya ebikungulwa byo n'emmere yo, batabani bo ne bawala bo bye bandiridde; balirya embuzi zo n'ente zo, balirya emizabbibu gyo n'emitiini gyo, balimenyaamenya n'ekitala ebibuga byo ebiriko enkomera bye weesiga.”
18
“Era naye ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, siribasaanyizaawo ddala.
19
Awo olulituuka abantu bwe balibabuuza nti, ‘Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna?’ Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda ba bannamawanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ”
20
Mulangirire kino mu nnyumba ya Yakobo, mukirangirire mu Yuda, nti,
21
“Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso naye temulaba; abalina amatu naye temuwulira.
22
Temuntya? bw'ayogera Mukama; Temuunkankanira? N'ateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako; era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwagula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako.
23
Naye abantu bano balina omutima omuwaganyavu era omujeemu; bajeemye bagenze.
24
So teboogera mu mutima gwabwe nti, ‘Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, eya ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera Ssabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.’
25
Obutali butuukirivu bwammwe bwe bubagyeeko ebyo, n'ebibi byammwe bye bibaziyiriza ebirungi.
26
Kubanga abasajja ababi baasangibwa mu bantu bange; balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, era bakwasa bantu.
27
Ng'ekisero bwe kijjula ennyonyi, ennyumba zaabwe bwe zijjula bwe zityo obulimba; kyebavudde bafuuka abakulu ne bagaggawala.
28
Bagezze, banyiridde, weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi; tebasala misango mu mazima, amazima g'oyo atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe.
29
Siribabonereza olw'ebyo? Bw'ayogera Mukama. Siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?”
30
Ekigambo eky'ekitalo era eky'ekivve kituukiridde mu nsi;
31
bannabbi balanga bya bulimba, ne bakabona bafuga nga bwe baagala; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo, naye mulikola mutya nga enkomerero etuuse?
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52