bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 7
Jeremiah 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 8 →
1
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti,
2
“Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangiririre eyo ekigambo kino, oyogere nti, Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama.
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, nange ndibaleka okutuula mu kifo kino.
4
Temwesiganga bigambo bya bulimba nti, ‘Eno ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama.’”
5
“Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaabeeranga abenkanya buli muntu eri munne;
6
bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so ne mutayiwa musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, era bwe mutatambulenga kugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini;
7
kale ndibaleka okutuula mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna.”
8
“Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa.
9
Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga,
10
ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno eyatuumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti, ‘Tuwonyezebbwa!’ mulyoke mukole emizizo egyo gyonna?
11
Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama.
12
Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri.
13
Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama, ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba;
14
kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange, gye mwesiga, n'ekifo kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro.
15
Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.”
16
“Kale tosabiranga bantu bano, so tobayimusirizanga kukaaba kwabwe, newakubadde okusaba kwabwe, so tonneegayiriranga, kubanga siikuwulire.
17
Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?
18
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansosonkereze okusunguwaza.
19
Nze gwe basosonkereza? Bw'ayogera Mukama; Si nze naye tebeeswaza bo bennyini?
20
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange kirifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so tebulizikizibwa.”
21
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama.
22
Kubanga ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri, ssaayogera ne bajjajjammwe era n'okubalagira eby'ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.
23
Naye kino kye nnabalagira nti, ‘Muwulirenga eddoboozi lyange, nange n'abanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange; era mutambulirenga mu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’
24
Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda emabega so tebeeyongera mu maaso.
25
Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, n'abatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma;
26
era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne baakola obubi okusinga bajjajjaabwe.”
27
“Era olibagamba ebigambo bino byonna; naye tebaalikuwulira; era olibakoowoola, naye tebaalikuyitaba.
28
Era olibagamba nti,‘ Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa; amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.’ ”
29
Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku ntiko ze nsozi; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe olw'obusungu bwe, era abaleseeyo.
30
“Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama, batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona.
31
Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby'e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekiyingirangako mu birowoozo byange.
32
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro; kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.
33
N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaliba alizisaggula.
34
Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'essanyu, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, kubanga ensi erifuuka matongo.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52