bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 28
Jeremiah 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 29 →
1
Mu mwaka ogwo gwennyini, ku ntandikwa y'obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'okutaano ogw'omwaka ogwokuna, Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nga agamba nti,
2
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni.
3
Mu bbanga lya myaka ebiri, ndikomyawo nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babbulooni.
4
Ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abantu bonna abawaŋŋanguka okuva mu Yuda abaagenda e Babbulooni, bw'ayogera Mukama, kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni.”
5
Awo nnabbi Yeremiya n'ayogera ne nnabbi Kananiya, mu maaso ga bakabona, n'abantu bonna abaali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama,
6
nnabbi Yeremiya n'ayogera nti, “Amiina! Mukama akole bw'atyo; Mukama atuukirize ebigambo byo byonna by'olagudde okukomyawo mu kifo kino okuva e Babbulooni, ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna abatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
7
Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bano bonna,
8
Bannabbi abansooka nze era n'abaakusooka ggwe edda baalagulanga, entalo, enjala ne kawumpuli eby'okujjira ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka ab'amaanyi.
9
Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale kirimanyibwa nga ddala Mukama, yaatumye nnabbi oyo.”
10
Awo Kananiya nnabbi n'aggya omuti gwe kikoligo mu nsingo ya nnabbi Yeremiya n'agumenya.
11
Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako.” Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo.
12
Ekiseera bw'ekyayitawo nga nnabbi Kananiya amaze okumenya emiti gy'ekikoligo okuva mu nsingo ya nnabbi Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya,
13
“Genda obuulire Kananiya nti,‘ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo eky'emiti, naye olikola ekikoligo eky'ebyuma okudda mu kifo kyakyo.
14
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Ntadde ekikoligo eky'ebyuma mu nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era balimuweereza, era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweereza.’ ”
15
Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba nnabbi Kananiya nti, “Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba.
16
N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, nja kukuggya mu nsi, mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ”
17
Mu mwaka ogwo gw'ennyini, mu mwezi ogw'omusanvu nnabbi Kananiya naafa.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52