bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 37
Jeremiah 37
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 38 →
1
Awo Zeddekiya mutabani wa Yosiya, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda, n'afuga mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu.
2
Naye newakubadde Zeddekiya, oba abaddu be wadde abantu ab'omu nsi, tebawulira bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya.
3
Awo kabaka Zeddekiya n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti, “Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.”
4
Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu, kubanga baali tebannamuteeka mu kkomera.
5
Eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizizza Yerusaalemi bwe baawulira amawulire agabakwatako, ne basaasaana okuva mu Yerusaalemi.
6
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri nnabbi Yeremiya nga kyogera nti,
7
“Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eribadde lizze, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri.
8
Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era balikimenya ne bakyokya omuliro.”
9
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temwerimba nga mwogera nti “Abakaludaaya tebalirema kutuvaako;” kubanga tebalibavaako.
10
“Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe, ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.”
11
Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo,
12
kale Yeremiya n'afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe mu bantu be.
13
Awo bwe yali ku mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa eyali awo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti, “Otoloka osenge Abakaludaaya.”
14
Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Olimba sitoloka kusenga Bakaludaaya;” naye Iriya n'atamuwuliriza, era n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.
15
Awo abakungu ne basunguwalira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga ennyumba eyo gye baali bafudde ekkomera.
16
Awo Yeremiya bwe yatuuka mu kasenge mu nnyumba ey'obunnya, era ng'amazeemu ennaku nnyingi;
17
awo Zeddekiya kabaka n'amutumya era naamusembeza; kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti, “Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama?” Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Weekiri.” Era n'ayogera nti, “Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni.”
18
Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti, “Nali nkwonoonye mu ki ggwe, oba abaddu bo, oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera?
19
Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babbulooni talibatabaala mmwe, newakubadde ensi eno?
20
Kale nno wulira, nkwegayiridde, ayi mukama wange kabaka, okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.”
21
Kale kabaka Zeddekiya n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52