bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 16
Jeremiah 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 17 →
1
Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi,
2
“Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab'obuwala mu kifo kino.”
3
Kubanga bwati bw'ayogera Mukama ebikwata ku baana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino ne bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababaazaalira mu nsi muno.
4
Balifa endwadde embi ennyo, tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku ngulu ku ttaka, era balimalibwawo n'ekitala n'enjala; n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi.
5
“ Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira; kubanga nzigye emirembe gyange ku bantu bano,’ bw'ayogera Mukama, era mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi.
6
Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno, tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, era tewaliba n'omu alyeemwa oba alyeesala ekiwalata ku lwabwe.
7
Tewaliba awa mukungubazi mmere okumukubagiza olw'okufiirwa, wadde okumuwa eky'okunywa okumubudabuda, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina.
8
So toliyingira mu nnyumba mwe baliira embaga, okutuula nabo, okulya n'okunywa.
9
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.”
10
“Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti, Kiki eky'ogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene ku ffe? Oba atulanga ki? Oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe?
11
Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange;
12
era kubanga mukoze bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli, nga mugaana okumpuliriza;
13
kyendiva mbagoba mu nsi eno ne mu genda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono.’ ”
14
“Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga tekikyayogerwa nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;’
15
naye nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde,’ era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.”
16
“Laba, nditumya abavubi bangi, bw'ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw'omu mayinja.
17
Kubanga amaaso gange gatunuulira amakubo gaabwe gonna, tewali kinkisibwa, so n'obutali butuukirivu bwabwe tebukwekebwa maaso gange.
18
Era ndisasula nga nkubisizaamu emirundi ebiri; obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe.”
19
Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, eri ggwe amawanga gonna gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti, “Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya, era bigambo ebitaliiko kye bigasa.
20
Omuntu ayinza okwekolera bakatonda? Abo bwe batyo si ba katonda!”
21
“N'olwekyo, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka, ndibamanyisa obuyinza bwange, era n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange nze Mukama.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52