bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 31
Jeremiah 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 32 →
1
“Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.”
2
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu abaawona ekitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe yeegomba ekiwummulo.
3
Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti, Weewaawo, Isiraeri nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo; kyenvudde nnyongera okukukwatirwa ekisa.
4
Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri, olyambalira nate ebitaasa byo, olifuluma nga muzina era nga musanyuka.
5
Olisimba nate ensuku ez'emizabbibu ku nsozi ez'e Samaliya; abasimbi balisimba ne balya ebibala byamu.
6
Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikoowoola nti, ‘Musituke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.’ ”
7
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muyimbe n'essanyu olwa Yakobo, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga, mulange, mutendereze, mwogere nti, ‘Mukama alokodde abantu be, aba Isiraeri abawonyeewo.’
8
Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi, era awamu nabo omuzibe w'amaaso, n'awenyera, omukazi ali olubuto, n'oyo alumwa okuzaala, balikomawo wano ekibiina kinene.
9
Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira; ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira, kubanga ndi kitaawe wa Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.
10
“Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti, ‘Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye.’
11
Kubanga Mukama yeyimiridde Yakobo, era amununudde okumuggya mu mukono gw'oyo amusinga amaanyi.
12
Kale balijja ne bayimbira waggulu ku ntikko ya Sayuuni, era balisanyukira obulungi bwa Mukama, era ne ŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta, n'abaana b'embuzi n'ab'ente; n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, era tebalibaako buyinike nate n'akatono.
13
Awo abawala balisanyuka ne bazina, abalenzi n'abasajja abakadde nabo balisanyuka, kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe.
14
Era ndinyiya emmeeme za bakabona n'amasavu, n'abantu bange balikkutta n'obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.”
15
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tebakyaliwo.”
16
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n'amaaso go galeme okuleeta amaziga; kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe.
17
Waliwo essuubi mu biseera byo ebijja, bw'ayogera Mukama, n'abaana bo balikomawo mu nsi yaabwe bo.
18
Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti, ‘Onkangavvudde ne nkangavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkomyawo nange nnazzibwawo, kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19
Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange, n'akwatibwa ensonyi, weewaawo, n'aswala kubanga n'asitula ekivume eky'omu buto bwange.’
20
Efulayimu mwana wange omwagalwa? Oli mwana ansanyusa? Kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini. N'olwekyo omwoyo gwange kye guvudde gunnuma ku lulwe; Ddala ddala ndimukwatirwa ekisa, bw'ayogera Mukama.
21
“Weesimbire obubonero ku kkubo, weekolere obulambe ku luguudo, lowooza ku kkubo eddene, oluguudo lwe waayitamu okugenda, komawo, ayi omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino.
22
Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ayi ggwe omuwala ateesigibwa? Kubanga Mukama atonze ekintu ekiggya mu nsi; omukazi okukuuma omusajja.”
23
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, “Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo emikisa gyabwe nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.’
24
Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula wamu; abalimi n'abo abatambulatambula n'ebisibo byabwe.
25
Kubanga ndikusa emmeeme ekooye, na buli mmeeme eriko obuyinike ndigijjuza.”
26
Awo ne ndyoka nzuukuka ne ndaba; otulo twange ne tumpoomera.
27
“ Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndisiga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda n'ensigo ey'abantu n'ensigo ey'ensolo.
28
Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya, okusuula, okuzikiriza era n'okuleeta obubi; bwe ntyo bwe ndibalabirira mu okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama.
29
Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.’
30
Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivu bwe ye; buli muntu alya ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera.
31
“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda,
32
si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama.
33
Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era ndigawandiika mu mitima gyabwe; nange n'abanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange,
34
nga olwo omuntu takyayigiriza munne, na buli muntu muganda we nga boogera nti, ‘Manya Mukama,’ kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama, kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.”
35
Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti,
36
“Singa ebiragiro bino eby'enkalakalira biva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirirekerawo okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.”
37
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.”
38
“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda.
39
Era omugwa ogugera gulireegebwa butereevu okuva eyo okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa.
40
N'ekiwonvu kyonna, eky'emirambo n'ekyevvu, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, n'okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama. Ekibuga ekyo tekirisimbulwa nate so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.”
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52