bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 30
Jeremiah 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 31 →
1
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti,
2
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkubuulidde.
3
Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndizaawo emikisa gy'abantu bange Isiraeri ne Yuda, era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era eriddamu okuba eyaabwe.”
4
Era bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isiraeri, ne Yuda nti,
5
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, tuwulidde eddoboozi ery'okukankana, n'ery'okutya, sso si lya mirembe.
6
Mubuuze nno mulabe; omusajja ayinza okulumwa okuzaala? Lwaki kale ndaba buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina, ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwaki amaaso gonna gaperuse?
7
Woowe! kubanga olunaku olwo olukulu lujja so tewali lulwenkana; kiriba kiseera Yakobo mw'alirabira ennaku; naye alirokoka mu zo.”
8
“Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo ekiri mu nsingo yaabwe, era ndikutula enjegere ezibasibye; era bannamawanga nga tebakyabafuula baddu nate.”
9
Naye baliweereza Mukama Katonda waabwe, ne Dawudi kabaka, gwe ndibayimusiriza.
10
“Kale totya, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ayi Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, n'ezzadde lyo okuva mu nsi gye mwasibirwa; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alibeera mirembe, so tewaliba alimutiisa.
11
Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola; kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalirawo ddala, naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.”
12
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ebbwa lyo teriwonyezeka, n'ekiwundu kyo si kya kitalo.
13
Tewali wa kukuwolereza, tewali ddagala ery'ekiwundu kyo, togenda kuwonyezebwa.
14
Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakyakufaako; kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, mbabonerezza n'obukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne ebibi byo byeyongedde.
15
Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? Obulumi bwo tebuwonyezeka, kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne bibi byo byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo.
16
Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu busibe; n'abo abakunyaga, baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga, ndibagabula okuba omuyiggo.
17
Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti, ‘Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atakyafaako!’
18
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndizzawo obulungi bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze, n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, era n'olubiri lulizzibwa we lwali.
19
Okuva mu bo muliva ennyimba ez'okwebaza, n'amaloboozi g'abo abasanyuka. Ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebalitoowazibwa.
20
Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga.
21
N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga, aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi, kubanga ani eyali ayaŋŋaanze okunsemberera? Bw'ayogera Mukama.
22
Nammwe munaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe.”
23
Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, alikuntira ku mutwe gy'ababi.
24
Obusungu bwa Mukama omukambwe tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza n'okukomekkereza omutima ebigendererwa by'omutima gwe. Mu nnaku ez'oluvannyuma mwe mulikitegeera bulungi.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52