bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 32
Jeremiah 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 33 →
1
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi (10) nga Zeddekiya ye kabaka wa Yuda, era gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) nga Nebukadduneeza ye kabaka we Babbulooni.
2
Awo mu kiseera ekyo eggye lya kabaka w'e Babbulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi; ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda.
3
Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti, “Lwaki olagula n'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikiwamba;
4
ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye aliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, era alimulaba maaso ku maaso;
5
era alitwala Zeddekiya e Babbulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjukira, bw'ayogera Mukama; newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, naye temujja kuwangula.’ ”
6
Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Ekigambo kya Mukama kyajja gye ndi nga kyogera nti,
7
Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti, ‘Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi, kubanga okuginunula kukwo.’
8
Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, n'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini, kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; gye gulire ku lulwo.’ Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama.
9
Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi okuva ku Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu (17).
10
Ne nteeka omukono ku ndagaano, ne ngissako akabonero, ne mpita abajulizi ne mmupimira effeeza mu minzaani.
11
Awo ne nkwata endagaano y'obuguzi nga nsibe, ng'etteeka n'empisa bwe biri, ne ndala nga si nsibe,
12
ne mpaayo endagaano y'obuguzi eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali, n'abajjulizi nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku ndagaano y'okugula, mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa.
13
Ne nkuutira Baluki mu maaso gaabwe nga njogera nti,
14
‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Twala endagaano zino, endagaano ey'obuguzi ensibe, n'eteri nsibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; zisobole okukuumibwa ebbanga eggwanvu.
15
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu ne biddamu nate okugulibwa mu nsi eno.’ ”
16
Awo nga mmaze okuwaayo endagaano ey'obuguzi, eri Baluki mutabani wa Neriya, ne nsaba Mukama nga njogera nti,
17
Ayi Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema,
18
olaga abantu enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo. Ayi Katonda omukulu era ow'amaanyi, Mukama w'eggye lye linnya lye,
19
omukulu mu kuteesa era ow'amaanyi mu bikolwa; amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri.
20
Walaga obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri, n'okutuusa leero mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; weekolera erinnya nga leero.
21
wa ggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'ebyewuunyo n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa ennyingi;
22
n'obawa ensi eno gye walayirira okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki;
23
era bagiyingira ne bagitwala. Naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola. N'olwekyo ky'ovudde obaleetako obubi buno bwonna.
24
Laba entuumo, zituuse mu ekibuga okukiwamba; era olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaladaaya abakirwanyisa; era, laba ebyo bye wayogera bituukiridde; era, laba naawe obirabye.
25
Era oŋŋambye, ayi Mukama Katonda, nti, “Weegulire ennimiro n'ebintu, era oyite abajulizi; newakubadde nga ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.”
26
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti,
27
“Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri; waliwo ekigambo kyonna ekinnema?”
28
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mikono gy'Abakaludaaya ne mu mikono gya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era alikiwamba.
29
Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza omuliro ne bakyokya, era balyokya n'ennyumba, abantu gye baayoterezanga Baali obubaane ku busolya bwazo, era n'ebiweebwayo eby'okunnywa gy'ebyafuukirwanga eri ba katonda abalala, nga bansomooza okunsunguwaza.
30
Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda tebalina kye bakoze wabula ebibi ebyereere mu maaso gange okuva mu buto bwabwe; era abaana ba Isiraeri tebalina kye bakoze wabula okunsomooza nga bansunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe bw'ayogera Mukama.
31
Kubanga kibuga kino kyasikuula obusungu bwange n'ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa, okutuusa ne leero; bw'entyo ndikiggya mu maaso gange,
32
olw'obubi bwonna abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Yuda bwe baakola okunsomooza okunsunguwaza, awamu ne bakabaka baabwe, abakungu baabwe, bakabona baabwe ne bannabbi baabwe, n'abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi.
33
Era bankubye enkoona, ne bankweka amaaso; newakubadde nga nnabayigiriza, obutasalako, naye tebaawuliriza basobole okuyiga.
34
Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba, eyitibwa erinnya lyange okugyonoona.
35
Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, balyoke bayisenga batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro, eri Moleki; kye sibalagiranga, so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa abantu ba Yuda.
36
“Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, ebikwata ku kibuga kino kye mwogerako nti, ‘Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, olw'ekitala, n'enjala ne kawumpuli;’
37
naye laba, nze ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi; era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mu mirembe,
38
era banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe.
39
Ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu, bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo.
40
Ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, nga siriddayo kukyuka kuleka kubakola bulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.
41
Weewaawo, ndisanyukira okubakolanga obulungi, era sirirema kubasimba mu nsi eno n'omutima gwange gwonna n'emmeeme yange yonna.”
42
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nga bwe ndeese obubi buno obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza.
43
Kale ennimiro zirigulwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; era eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.
44
Abantu baligula ennimiro n'ebintu, endagaano ne zinassibwangako emikono, ne ziteekebwako n'akabonero ne bayita n'abajulizi mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukkiikkaddyo; kubanga ndizzawo emikisa gyabwe, bw'ayogera Mukama.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52