bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 14
Jeremiah 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 15 →
1
Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nga kikwata ku kyanda.
2
“Yuda akungubaga, n'enzigi ze ziyongobera; abantu be banyolwa nga batudde ku ttaka, n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.
3
N'abakungu baabwe batuma abakozi baabwe emugga; batuuka ku nzizi, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga nkalu; ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.
4
Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebaava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe.
5
Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabaawo muddo.
6
N'entulege ziyimirira ku nsozi enjereere, ziwejjawejja olw'empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera.”
7
“Newakubadde obutali butuukirivu bwaffe nga butulumiriza, baako ky'okola, ayi Mukama olw'erinnya lyo, kubanga okudda kwaffe emabega kungi; era twakwonoona.
8
Ayi, ggwe essuubi lya Isiraeri, omulokozi we mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze asula ekiro ekimu?
9
Wandibeeredde ki ng'omusajja asobeddwa, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? So nga ggwe, ayi Mukama, oli wakati muffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.”
10
Bw'ati bw'agamba Mukama ebikwata ku bantu bano, “Baayagalanga okuwaba, bwe batyo tebaziyizanga bigere byabwe; n'olwekyo Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.”
11
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi.
12
Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.”
13
Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi bagamba abantu nti, ‘Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye Mukama alibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.’ ”
14
Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi boogera eby'obulimba mu linnya lyange, saabatuma so saabalagira so ssaayogera nabo. Baabagamba okwolesebwa okw'obulimba n'ebigambo bye baabagamba tebiriimu, wabula obukuusa obw'omu mutima gwabwe.”
15
“N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwatagana ne bannabbi aboogerera mu linnya lyange so nga saabatuma, naye ne boogera nti, ‘Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno,’ Ekitala n'enjala bye birizikiriza bannabbi abo.
16
N'abantu be bategeeza balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaalemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe. Kubanga ndifuka obubi bwabwe ku bo bennyini.”
17
“ Era olibagamba ekigambo kino nti, ‘Muleke amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro, era galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja afumitiddwa ekiwundu ekinene, n'olukuba olw'obulumi.’
18
Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala! era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala! kubanga nnabbi era ne kabona batambulatambula mu nsi, nga bategeeza abantu nabo bye batamanyi.”
19
“Ogaanidde ddala Yuda? Emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? Lwaki otufumitidde ddala, so nga tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi bye twafuna; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, twajjirwa ekikangabwa!
20
Tukkiriza obubi bwaffe, Ayi Mukama, n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga twakwonoona.
21
Totusuula olw'erinnya lyo; tonyoomesa kitiibwa kya nnamulondo yo; jjukira era tomenya ndagaano gye walagaana naffe.
22
Waliwo mu ba katonda ab'amawanga ayinza okutonnyesa enkuba? Oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? Si ggwe wuuyo, ayi Mukama Katonda waffe? Kyetunaavanga tuteeka essuubi lyaffe ku ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52