bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 25
Jeremiah 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 26 →
1
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekikwata ku bantu bonna aba Yuda, mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogwolubereberye ogwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni.
2
Ekyo Yeremiya nnabbi kye yabuulira abantu bonna aba Yuda ne bonna abaali mu Yerusaalemi, ng'ayogera nti,
3
“Okumala emyaka abiri mu esatu (23), okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda n'okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temwawulirizanga.
4
Temwawulirizanga wadde okutega amatu gammwe okuwulira, newakubadde Mukama yayongera okubatumiranga abaddu be bonna bannabbi.
5
Yayogeranga nti, ‘Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkubo lye ebbi, n'ebikolwa byammwe ebibi, mulyoke mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna;
6
so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga nga musinza ebyo byemukola n'emikono gyammwe, nange siribakola bubi.’
7
Era naye temwampuliranga, bw'ayogera Mukama; mulyoke munsomoze okunyiiga, olw'ebyo bye mukola n'emikono gyammwe, ne mwerumya mwekka.”
8
“ Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga temuwulidde bigambo byange,
9
laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera.
10
Era nate ndibaggyako eddoboozi ery'okusanyuka, n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole, n'eddoboozi ly'omugole, tewaliba asa ku lubengo, wadde ekitangaala ky'ettabaaza.
11
N'ensi eno yonna eriba matongo era nga tegasa; n'amawanga gano galiweereza kabaka w'e Babbulooni okumala emyaka nsanvu (70).
12
Awo olulituuka emyaka ensanvu (70) bwe giriggwako, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babbulooni n'eggwanga eryo, ensi y'Abakaludaaya olw'obubi bwabwe bw'ayogera Mukama, era ndifuula ensi etegasa ennaku zonna.
13
Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya bye yayogera eri amawanga gonna.
14
Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli.”
15
Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yaŋŋamba nti, “Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, okinyweseeko amawanga gonna gye nkutuma.
16
Kale balinywa ne batagatta ne balaluka olw'ekitala kye ndiweereza mu bo.”
17
Awo ne ntoola ekikompe mu mukono gwa Mukama, ne nkinywesaako ab'amawanga gonna Mukama gye yantuma.
18
Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, ne bakinywako, okubafuula amatongo, n'ekyewuunyo, n'okusoozebwanga, n'ekikolimo; nga bwe kiri ne leero.
19
Falaawo kabaka w'e Misiri n'abaddu be n'abakungu be n'abantu be bonna;
20
n'abagwira bonna abali mu bo, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Uzi, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ey'Abafirisuuti, ne Asukulooni ne Gaaza ne Ekuloni n'abafisseewo mu Asudodi;
21
Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni;
22
ne bakabaka bonna ab'e Ttuulo ne bakabaka bonna ab'e Sidoni ne bakabaka b'ekizinga ekiri emitala w'ennyanja;
23
Dedani ne Tema ne Buzi ne bonna abasala ku nviiri zaabwe;
24
ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu ne bakabaka bonna ab'abantu abenjawulo ababeera mu ddungu;
25
ne bakabaka bonna ab'e Zimuli, ne bakabaka bonna aba Eramu, ne bakabaka bonna aba Abameedi;
26
ne bakabaka bonna ab'obukkiikkakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; bonna balikinywesebwako. Kabaka w'e Sesaki ye alisembayo okukinywako.
27
“Era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe.’ ”
28
Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Muteekwa okunywa!
29
Kubanga, laba, ntandika okuleeta obubi ku kibuga ekituumiddwa erinnya lyange, era oligenda nga tobonerezeddwa? Temuliwona kubonerezebwa, kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
30
Kale gwe obagambanga ebigambo ebyo byonna, nti, Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu, abo bonna abatuula ku nsi.
31
Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina omusango gw'avunaana amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; era ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama.
32
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, akabi kalifuluma okuva mu ggwanga erimu okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa okuva ku njegoyego ez'enkomerero z'ensi.
33
N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo, tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi.
34
“Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo; kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa.
35
N'abasumba tebaliba na kkubo lya kuddukiramu, newakubadde abakulu ab'omu kisibo tebaliba na kkubo lyakuwoneramu.
36
Muwulire eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'abasumba n'okuwowoggana kw'abakulu ab'omu kisibo! kubanga Mukama azisizza eddundiro lyabwe.
37
N'ebisibo ebyabangamu emirembe, birisasanyizibwa olw'ekiruyi kya Mukama.
38
Ng'empologoma evudde mu bwekwekero bwayo, kubanga ensi yaabwe efuuse etagasa olw'ekitala ky'omujoozi, n'olw'ekiruyi kya Mukama.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52