bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 51
Jeremiah 51
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 50
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 52 →
1
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndisikuula omwoyo gw'omuzikiriza ku Babbulooni, ne ku batuula mu Bakaludaaya.
2
Era ndisindika e Babbulooni bannamawanga ne bakizikiriza, n'ensi ye baligikaliza, bwe baligirumba okuva ku njuyi zonna, ku lunaku olw'okulabiramu ennaku.
3
Temuleka mulasi kunaanula mutego gwe, era temumuleka kuyimirira ng'ayambadde ekizibawo kye eky'ebyuma. Temusonyiwa balenzi baamu, muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna.
4
Era baligwira mu nsi ey'Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafumitiddwa mu nguudo zaakyo.
5
Kubanga Isiraeri ne Yuda talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, naye ensi y'Abakaludaaya ejjudde omusango gwe bazza eri Omutukuvu wa Isiraeri.
6
Mudduke muve mu Babbulooni wakati, buli muntu awonye obulamu bwe! Muleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo, alikisasula empeera ekigwanira.
7
Babbulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiizanga ensi zonna; amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo; bwe gatyo amawanga ago ne galaluka.
8
Babbulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde; Mukikungubagire! Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa.
9
Twandiwonyezza Babbulooni, naye tekiwonye. Mukireke tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bire.
10
Mukama ayolesezza obutuukirivu bwaffe; mujje tulangirire mu Sayuuni omulimu gwa Mukama Katonda waffe.
11
Muwagale obusaale! Musitule engabo! Mukama asiikudde emmeeme za bakabaka b'Abameedi, kubanga okuteesa kwe okukwata ku Babbulooni ku kizikiriza, kuba eryo lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa Yeekaalu ye.
12
Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babbulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi; kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babbulooni.
13
Ayi ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby'obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, akawuzi k'obulamu bwo kakutuddwa.
14
Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti, Mazima ndikujjuza abasajja bangi nga bulusejjera, era balikukuba olwogoolo, nga bawangudde.”
15
“Mukama yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe.
16
Bwafulumya eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonya, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
17
Buli muntu musiru era talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ebifaananyi bye ebyole byaweesa bimukwasa ensonyi; kubanga ebifaananyi ebyo bulimba, so mu byo temuli mukka.
18
Byonna birerya, mulimu gwa bulimba; mu kiseera kyabyo eky'okubonerezebwa birizikirizibwa.
19
Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo, kubanga oyo ye yakola ebintu byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe; Mukama w'eggye lye linnya lye.”
20
“Ggwe nnyondo yange era eky'okulwanyisa eky'olutalo; era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka;
21
era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n'oyo agyebagadde; era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n'oyo akitambuliramu;
22
era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n'omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n'omuvubuka; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n'omuwala;
23
era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n'ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi ne bakola nabo; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuzi n'abaduumizi b'eggye.
24
Era ndisasula Babbulooni n'abo bonna abali mu Bakaludaaya olw'obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.”
25
“Laba, ndi mulabe wo, ayi olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna; era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya.
26
So tebalikuggyako jjinja okuba ery'oku nsonda, newakubadde ejjinja ery'omusingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama.
27
Muwanike ebendera mu nsi, mufuuwe ekkondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, muyite obwakabaka obwa Alalati, Mini, ne Asukenaazi, okukikuŋŋaanirako, mulonde omugabe anaaduumira; muleete embalaasi ennyingi ng'ebibinja by'enzige.
28
Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b'Abameedi, abaamasaza baamu, n'abasigire baamu bonna, n'ensi zonna ze baatwala.
29
Ensi ekankana era yeetoloolera mu bulumi, kubanga ebyo Mukama bye yamalirira okukola Babbulooni, ajja kubituukiriza, okufuula ensi y'e Babbulooni amatongo, nga tewali agibeeramu.
30
Abalwanyi ab'e Babbulooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bigo byabwe ebigumu; amaanyi gaabwe gaweddewo; bafuuse ng'abakazi; ennyumba zaakyo zookeddwa omuliro, ebisiba byakyo bimenyese.
31
Omubaka omu adduka okusisinkana ne munne, era n'omubaka omu asisinkana omulala, okutegeeza kabaka w'e Babbulooni ng'ekibuga kye bwe kimenyeddwa enjuyi zonna;
32
awasomokerwa wawambiddwa, era ebigo ebigumu babikumyeko omuliro, n'abalwanyi bali mukutya.”
33
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Abantu be Babbulooni baliŋŋaanga egguuliro, mu biseera mwe balisambiriramu, so nga mu kiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu bituuke.
34
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, andidde, ambetense, anfudde ekibya ekyereere, ammize ng'ogusota, ajjuzizza olubuto lwe n'eby'okulya byange ebirungi; ankamudde.
35
Obukambwe obwankolwako n'abantu bange bubeere ku Babbulooni, Abatuula mu Sayuuni boogera nti, ‘Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya,’ bw'atyo Yerusaalemi bw'alyogera.”
36
“N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga. Ndikaliza ennyanja yaakyo, ndifuula ensulo zaakyo ez'amazzi enkalu.
37
Kale Babbulooni kirifuuka ntuumu ya bifunfugu, ekifo eky'ebibe eky'okubeeramu, ekitiisa, n'okusoozebwa, nga tewali akibeeramu.
38
Baliwulugumira wamu ng'empologoma; era balivuuma ng'empologoma ento.
39
Bwe balibuguumirira, ndibafumbira embaga, era ndibatamiiza, okutuusa lwe balizirika, era ne beebaka otulo obutaddayo kuzuukuka, bw'ayogera Mukama.
40
Ndibaserengesa ng'abaana b'endiga okuttibwa, ng'endiga ennume wamu n'embuzi ennume. ’ ”
41
“Babbulooni nga kimenyeddwa! Ettendo ery'ensi zonna liwambiddwa! Babbulooni nga kifuuse ekitiisa mu mawanga!
42
Ennyanja ekulumulukukidde ku Babbulooni, amayengo gaayo ag'amaanyi, gakibisseeko.
43
Ebibuga byakyo bifuuse ebitiisa, ensi ey'ekyeya n'eddungu, ensi omutali muntu agibeeramu, era omutali muntu agiyitamu.
44
Era ndibonereza Beeri, katonda we Babbulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza; bbugwe w'e Babbulooni agudde.”
45
“Muve wakati mu kyo, mmwe abantu bange! Buli muntu awonye obulamu bwe okuva mu busungu obukambwe obwa Mukama!
46
Omutima gwammwe guleme okuzirika, era muleme okutya olw'ebyo ebiwulirwa mu nsi, bwe munabiwulira mu mwaka ogumu, oluvannyuma mulibiwulira mu mwaka omulala, era obukambwe buli mu nsi, nga omufuzi omu alwana n'omulala.
47
Kale, laba, ennaku zijja, lwe ndibonereza ebifaananyi eby'e Babbulooni, ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwa wakati mu kyo.
48
Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babbulooni; kubanga abazikiriza balijja okubalumba nga bava mu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama.
49
Babbulooni ateekwa okugwa olw'Abaisraeri abattibwa, bwe kityo e Babbulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira.”
50
“Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi! Mujjukire Mukama nga musinziira wala, era muleke Yerusaalemi kijje mu mitima gyammwe.
51
Tuswazibbwa, kubanga tuwulidde okuvumibwa; okunyoomebwa kubisse amaaso gaffe, kubanga bannamawanga bayingidde mu bifo ebitukuvu eby'omu nnyumba ya Mukama.
52
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, bwe ndimusalira omusango olw'ebifaananyi bye, era okuyita mu nsi ye yonna abaliko ebiwundu balisinda.
53
Newakubadde Babbulooni alirinnya okutuuka mu ggulu, era newakubadde yeezimbira ebigo bye ebigumu, naye abazikiriza baliva gyendi ne bamulumba, bw'ayogera Mukama.”
54
“Muwulire! Okukaaba okuva mu Babbulooni! Eddoboozi ery'okuzikirira okunene okuva mu nsi ey'Abakaludaaya!
55
Kubanga Mukama afuula Babbulooni ekitagasa, era asirissa eddoboozi lye ery'amaanyi. Amayengo gaabwe gawuuma nga ag'amazzi amangi, era okuleekaana kw'eddoboozi lyabwe kulinyisiddwa;
56
kubanga omuzikiriza amutuuseeko, atuuse ku Babbulooni; abalwanyi be bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese; kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kukuwa mpeera.
57
Era nditamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abalwanyi be; era balyebaka otulo otw'olubeerera, so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
58
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Ekisenge kye ekigazi kiriseetezebwa ku ttaka, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga geekoyeza bwereere, omuliro gulizikiriza byonna bye gakola.”
59
Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya, Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda ne Zeddekiya kabaka wa Yuda e Babbulooni, mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu.
60
Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okutuuka ku Babbulooni, ebigambo bino byonna biwandiikiddwa nga bikwata ku Babbulooni.
61
Awo Yeremiya n'agamba Seraya nti, Bw'olituuka mu Babbulooni, olabanga ng'osoma mu lwatu ebigambo bino byonna,
62
oyogere nti, Ayi Mukama, wayogera ebikwata ku kifo kino nti olikizikiriza, obutabaamu akibeeramu, omuntu newakubadde ensolo, naye kibeere matongo ennaku zonna.
63
Awo olulituuka bw'olimala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja n'okisuula mu mugga Fulaati wakati:
64
era olyogera nti, Babbulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako. Okutuuka wano by'ebigambo bya Yeremiya.
← Chapter 50
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 52 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52