bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 1
Genesis 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 2 →
1
Ku ntandikwa, Katonda yatonda eggulu n'ensi.
2
Ensi yali mu mbeera eyeetabuddetabudde, era nga njereere. Ekizikiza kyali kibuutikidde oguyanja, n'omwoyo gwa Katonda gwali gwetawulira ku mazzi.
3
Awo Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala,
4
Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. N'ayawula ekitangaala ku kizikiza.
5
Ekitangaala n'akiyita “Emisana,” ate ekizikiza n'akiyita “Ekiro.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olubereberye.
6
Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebbanga wakati w'amazzi, ligaawulemu.”
7
N'ateekawo ebbanga, n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga, n'agali waggulu waalyo. Ne kiba bwe kityo.
8
Ebbanga n'aliyita “Eggulu.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokubiri.
9
Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu, gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo.
10
Olukalu n'aluyita “Ensi,” ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi, n'aliyita “Ennyanja.” Katonda n'alaba nga birungi.
11
Era n'agamba nti: “Ensi emere ebimera ebya buli ngeri, ebeeremu omuddo ogubala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebirimu ensigo, ng'ebika byabyo bwe biri.” Ne kiba bwe kityo.
12
Awo ensi n'emera ebimera ebya buli ngeri: omuddo ogubala ensigo, ng'ebika byagwo bwe biri, ne miti egy'ebibala bwe gityo. Katonda n'alaba nga birungi.
13
Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
14
Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era biragenga ebiseera by'obudde, n'ennaku, n'emyaka,
15
byakirenga mu bbanga ery'eggulu, bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo.
16
Awo Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene, ekisinga obunene kifugenga emisana, ate ekitono kifugenga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye.
17
Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu, bimulisenga ensi,
18
bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga birungi.
19
Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
20
Katonda n'agamba nti: “Ekkuŋŋaaniro ly'amazzi lijjulemu ebiramu ebyewalula, n'ensi ebeeremu ebiramu ebibuuka mu bbanga.”
21
Katonda n'atonda agasolo aganene ag'omu nnyanja, n'ebitonde byonna ebya buli ngeri ebibeera mu mazzi, n'ebibuuka mu bbanga. Katonda n'alaba nga birungi.
22
N'abiwa omukisa, n'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ennyanja. N'ebibuuka mu bbanga byale mu nsi.”
23
Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokutaano.
24
Katonda n'agamba nti: “Ensi esibukemu ebiramu ebya buli ngeri, ensolo ezifugibwa, n'ez'omu ttale, ennene n'entono, n'ebyewalula.” Ne kiba bwe kityo.
25
Katonda n'akola ebyo byonna, era n'alaba nga birungi.
26
Katonda n'agamba nti: “Tukole abantu abali nga ffe, nga batufaanana, bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka mu bbanga, n'ebyewalula ku ttaka, n'ensolo era n'ensi yonna.”
27
Awo Katonda n'atonda abantu abali nga ye, n'abatonda nga bamufaanana. Yabatonda omusajja n'omukazi,
28
n'abawa omukisa, ng'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ensi, mugifuge. Mulabirirenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka mu bbanga n'ebiramu byonna ebyetawulira ku nsi.”
29
Katonda n'agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebiri ku nsi, ebibala ensigo, era n'emiti gyonna egibala, bibeerenga emmere yammwe.
30
Ensolo zonna n'ennyonyi nziwadde omuddo n'amakoola, bibeerenga emmere yaabyo.” Ne kiba bwe kityo.
31
Katonda n'atunula ku buli ky'akoze, n'alaba nga kirungi nnyo. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olw'omukaaga.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50