bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 39
Genesis 39
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 40 →
1
Yosefu ne bamuserengesa mu Misiri, Potifaari Omumisiri, omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri, n'amugula ku Bayisimayeli abaamuserengesaayo.
2
Mukama n'aba wamu ne Yosefu, Yosefu n'aba wa mukisa mu byonna by'akola, n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri,
3
eyalaba nga Mukama ali ne Yosefu era ng'amuwa omukisa mu buli ky'akola.
4
Potifaari n'asiima Yosefu, n'amufuula omuweereza we owenjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna.
5
Okuva olwo amaka g'Omumisiri n'ebibye byonna, bye yalina mu nnyumba ye, ne mu nnimiro ze, Mukama n'abiwa omukisa.
6
Potifaari n'alekera Yosefu ebibye byonna okubirabiriranga, nga takyeraliikirira kintu kye na kimu, wabula emmere gye yalyanga. Yosefu yali mulungi mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa.
7
Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n'amusuuliza amaaso, n'agamba nti: “Weebake nange.”
8
Naye Yosefu n'agaana, n'agamba muka mukama we nti: “Laba, mukama wange takyeraliikirira kintu kye na kimu mu nnyumba, kubanga nze wendi, era yandekera ebibye byonna okubirabirira.
9
Nnina obuyinza mu maka gano obwenkanankana n'obubwe, era talina ky'atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo, ne nsobya eri Katonda?”
10
Newaakubadde ng'omukazi oyo yagambanga Yosefu buli lunaku, naye Yosefu yagaana okwebaka naye wadde okubeera naye.
11
Naye lwali lumu, Yosefu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye, era nga tewali baweereza ba mu nnyumba balala.
12
Omukazi n'akwata Yosefu ekyambalo, ng'amugamba nti: “Weebake nange.” Naye Yosefu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi, n'adduka n'afuluma ebweru.
13
Omukazi bwe yalaba nga Yosefu alese ekyambalo kye mu ngalo ze, n'adduka n'afuluma ebweru,
14
n'ayita abaweereza ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti: “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebureeyi okutujooga. Ayingidde gye ndi okwebaka nange, ne ndeekaana nnyo.
15
Bw'awulidde nga nkubye enduulu n'andekera ekyambalo kye, n'adduka n'afuluma ebweru.”
16
Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yosefu okutuusa mukama wa Yosefu lwe yakomawo eka.
17
N'amubuulira ebigambo bye bimu nti: “Omuweereza Omwebureeyi gwe watuleetera, yayingira gye ndi okunjooga.
18
Naye bwe nakuba enduulu, n'andekera ekyambalo kye n'adduka n'afuluma ebweru.”
19
Awo mukama wa Yosefu bwe yawulira ebigambo bya mukazi we nti: “Bw'atyo omusajja wo bwe yampisa,” n'asunguwala,
20
n'akwata Yosefu, n'amuteeka mu kkomera abasibe ba kabaka mwe bakuumirwa, Yosefu n'abeera omwo mu kkomera.
21
Naye Mukama n'aba awamu ne Yosefu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera.
22
Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yosefu abasibe bonna mu kkomera okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera.
23
Omukuumi w'ekkomera teyeeraliikiriranga kintu na kimu ekyakwasibwa Yosefu, kubanga Mukama yali wamu ne Yosefu, n'awa omukisa buli kimu kye yakola.
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50