bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 4
Genesis 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 5 →
1
Awo Adamu ne yeegatta ne Haawa mukazi we, Haawa n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'agamba nti: “Mukama annyambye ne nzaala omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya Kayini.
2
Oluvannyuma n'azzaako omwana omulala ow'obulenzi, Abeeli. Abeeli oyo n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi.
3
Bwe waayitawo ekiseera, Kayini n'aleeta ku bibala bye yalima, okubiwaayo eri Katonda.
4
Abeeli naye n'aleeta ku ndiga ze, ezaasookanga okuzaalibwa, n'azitta, n'awaayo ebitundu ebisinga obusava. Mukama n'asiima Abeeli ne ky'awaddeyo,
5
naye n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, era n'atunula bubi.
6
Mukama n'agamba Kayini nti: “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi?
7
Singa okola ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye bw'okola ekibi, ekibi kibeera ku luggi lwo. Kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.”
8
Kayini n'agamba Abeeli muganda we nti: “Tugende mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini ne yeefuulira muganda we, n'amutta.
9
Mukama n'abuuza Kayini nti: “Muganda wo Abeeli aluwa?” Kayini n'addamu nti: “Nze nkuuma muganda wange?”
10
Mukama n'agamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.
11
Kale kaakano okolimiddwa ku ttaka eryasamye, ne limira omusaayi gwa muganda wo gw'osse.
12
Okuva kati, bw'onoolimanga ettaka, teriikubalizenga bibala mu bugimu bwalyo. Onoobanga mmomboze era mubungeese mu nsi.”
13
Kayini n'agamba Mukama nti: “Ekibonerezo ky'ompadde, kisukkiridde ku kye nnyinza okugumira.
14
Ettaka olinzigyeko, era ongobye mu maaso go, nfuuse mmomboze era mubungeese mu nsi, era buli andaba, alinzita bussi!”
15
Mukama n'amugamba nti: “Nedda. Buli alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Awo Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli amulaba aleme okumutta.
16
Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'abeera mu nsi eyitibwa “Nodi,” mu buvanjuba bwa Edeni.
17
Awo Kayini ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya ly'omwana we Enoka.
18
Enoka n'azaala Yiradi, Yiradi n'azaala Mehuyayeli, Mehuyayeli n'azaala Metusayeli, Metusayeli n'azaala Lameka.
19
Lameka n'awasa abakazi babiri, omu ye Ada, omulala ye Ziila.
20
Ada n'azaala Yabali, jjajja w'abalunzi abasula mu weema.
21
Muganda we ye Yubali, jjajja w'abo bonna abakuba ennanga, n'abafuuwa endere.
22
Ziila n'azaala Tubalu Kayini, omuweesi w'ebikozesebwa byonna eby'ekikomo n'eby'ekyuma. Mwannyina Tubalu Kayini, ye Naama.
23
Lameka n'agamba bakazi be nti: “Bakazi bange mwenna Ada ne Ziila, muwulire kye ŋŋamba. Natta omusajja eyanfumita, era omuvubuka eyankuba.
24
Oba nga Kayini aliwoolerwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwoolerwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
25
Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate, mukazi we n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seeti, ng'agamba nti: “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeli, Kayini gwe yatta.”
26
Seeti naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Enosi. Mu biro ebyo, abantu we baasookera okusinzanga Mukama.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50