bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 16
Genesis 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
1
Saraayi muka Aburaamu, teyazaalira bba mwana. Kyokka yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agari.
2
Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Mukama anziyizza okuzaala. Twala omuzaana wange, oboolyawo alinzaalira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Saraayi by'amugambye.
3
Aburaamu bwe yali nga yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanaani, mukazi we Saraayi n'amuwa Agari omuzaana we Omumisiri, abe mukazi we.
4
Aburaamu ne yeegatta ne Agari, Agari n'aba olubuto. Agari, bwe yalaba ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we.
5
Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Ekibi ekinkoleddwa kiddire ggwe. Nakuwa omuzaana wange. Kale bwe yalaba ng'ali lubuto, n'annyooma. Mukama asalewo omutuufu wakati wo nange.”
6
Aburaamu n'agamba Saraayi nti: “Ndaba ono muzaana wo, era ali mu mikono gyo! Mukole ky'oyagala!” Awo Saraayi n'akambuwalira nnyo Agari, Agari n'amuddukako.
7
Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agari awali oluzzi mu ddungu, mu kkubo eriraga e Suuri.
8
N'agamba nti: “Agari, omuzaana wa Saraayi, ova wa, era ogenda wa?” Agari n'amuddamu nti: “Nziruka mugole wange Saraayi.”
9
Malayika wa Mukama n'amugamba nti: “Ddayo eri mugole wo, omugonderenga.”
10
Malayika wa Mukama era n'amugamba nti: “Ndikuwa abazzukulu bangi nnyo, abatasobola na kubalika.
11
Kaakati oli lubuto, era ojja kuzaala omwana wa bulenzi era omutuume erinnya Yisimayeli, kubanga Mukama awulidde okukaaba kwo mu buyinike.
12
Naye mutabani wo aliba ng'entulege. Anaalwanagananga na buli muntu, era buli muntu anaalwanagananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”
13
Agari n'ayita Mukama eyayogera naye, nti: “Katonda alaba. ” Kubanga yagamba nti: “Ddala ndabye ku Katonda, ne nsigala nga ndi mulamu?”
14
Oluzzi olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kyerwava luyitibwa “Oluzzi lw'Omulamu Andaba.”
15
Agari n'azaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'amutuuma erinnya Yisimayeli.
16
Olwo Aburaamu yali aweza emyaka kinaana mu mukaaga.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50