bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 29
Genesis 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
1
Yakobo n'ayongera okutambula, n'atuuka mu nsi y'abantu ab'ebuvanjuba.
2
Bwe yatunula, n'alaba oluzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga, nga zigalamidde awo awali oluzzi, kubanga mu luzzi omwo, mwe baanywesezanga amagana. Lwalina ejjinja eddene erirusaanikira.
3
Amagana gonna bwe gaakuŋŋaananga, awo abasumba ne bayiringisa ejjinja eryo, ne banywesa endiga, ne balyoka bazzaawo ejjinja okusaanikira oluzzi.
4
Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Baganda bange, muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva Harani.”
5
N'ababuuza nti: “Mumanyi Labani, mutabani wa Nahori?” Ne baddamu nti: “Tumumanyi.”
6
N'abuuza nti: “Mulamu?” Ne baddamu nti: “Mulamu, era ne muwala we Raakeeli wuuyo ajja n'endiga.”
7
Yakobo n'agamba nti: “Obudde buubuno bukyali misana, obw'okukuŋŋaanya amagana tebunnatuuka. Munywese endiga, mugende muzirunde.”
8
Ne bagamba nti: “Tetuyinza. Amagana gonna gamala kukuŋŋaanyizibwa, ne tuyiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, ne tulyoka tunywesa endiga.”
9
Yakobo yali akyayogera nabo, Raakeeli n'ajja n'endiga za kitaawe, kubanga ye yazirundanga.
10
Yakobo bwe yalaba Raakeeli muwala wa kojjaawe Labani awamu n'endiga za kojjaawe oyo, n'agenda n'ayiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, n'anywesa endiga za Labani kojjaawe.
11
N'anywegera Raakeeli, n'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka.
12
Yakobo n'ategeeza Raakeeli nti: “Ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Rebbeeka.” Raakeeli n'adduka okubuulira kitaawe.
13
Awo Labani bwe yawulira nga Yakobo omwana wa mwannyina azze, n'adduka okumusisinkana. N'amugwa mu kifuba, n'amunywegera n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labani byonna.
14
Labani n'agamba nti: “Mazima oli wa musaayi gwange, era wa munda nnyo.” Yakobo n'amala naye omwezi gumu.
15
Labani n'agamba Yakobo nti: “Tojja kumpeererezanga bwereere newaakubadde oli waaluganda. Mbuulira, oyagala mpeera ki?”
16
Labani yalina bawala be babiri, omukulu erinnya lye ye Leeya, omuto nga ye Raakeeli.
17
Amaaso ga Leeya gaali tegasikiriza, naye Raakeeli yali mulungi, n'amaaso ge nga gasanyusa.
18
Yakobo n'ayagala Raakeeli, n'agamba nti: “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Raakeeli muwala wo omuto.”
19
Labani n'agamba nti: “Okumuwa ggwe kisinga okumuwa omusajja omulala. Beera nange.”
20
Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Raakeeli, ne gimulabikira ng'ennaku entono, olw'okwagala kwe yamwagalamu.
21
Awo Yakobo n'agamba Labani nti: “Mpa muwala wo mmuwase, kubanga ekiseera kiweddeko.”
22
Labani n'ayita abantu bonna ab'omu kifo ekyo, n'akola embaga.
23
Naye ekiro ekyo n'addira muwala we Leeya n'amutwalira Yakobo, ne yeegatta naye.
24
Labani n'awaayo omuzaana we Zilupa eri muwala we Leeya, okuba omuzaana we.
25
Enkeera ku makya, Yakobo lwe yamanya nti oyo ye Leeya. N'agamba Labani nti: “Kino kiki ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Raakeeli? Kale lwaki onnimbye?”
26
Labani n'addamu nti: “Tekikolebwa mu nsi yaffe okuwaayo omuto, n'asooka omukulu okufumbirwa.
27
Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala, singa onompeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.”
28
Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labani n'amuwa muwala we Raakeeli okuba mukazi we.
29
Labani n'awaayo omuzaana we Biliha eri muwala we Raakeeli, okuba omuzaana we.
30
Yakobo era ne Raakeeli ne yeegatta naye, n'amwagala okusinga Leeya. N'aweereza Labani okumala emyaka emirala musanvu.
31
Mukama bwe yalaba nga Leeya tayagalibwa nga Raakeeli, n'amuwa okuzaala, naye Raakeeli yali mugumba.
32
Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Rewubeeni, kubanga yagamba nti: “Mukama alabye okubonaabona kwange, kaakano baze ananjagala.”
33
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi n'agamba nti: “Mukama yawulira nga ssaagalibwa kyavudde era ampa omwana ono.” N'amutuuma erinnya Simyoni.
34
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'agamba nti: “Omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” Kyeyava amutuuma erinnya Leevi.
35
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi. N'agamba nti: “Omulundi guno nja kutendereza Mukama.” Kyeyava amutuuma erinnya Yuda. N'alekera awo okuzaala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50