bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 49
Genesis 49
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 50 →
1
Awo Yakobo n'ayita batabani be n'agamba nti: “Mukuŋŋaane, mbabuulire ebiribatuukako gye bujja.
2
Mukuŋŋaane batabani ba Yakobo, muwulire kitammwe Yisirayeli.
3
Rewubeeni omwana wange omubereberye, ggwe maanyi gange, omwana ow'obuvubuka bwange, asinga okwekuza n'obukaali.
4
Okulugguka ng'amazzi. Toliba mukulu, kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo n'okiweebuula. Wayingira mu buliri bwange.
5
“Simyoni ne Leevi baaluganda, abakwata ebitala byabwe okukola eby'obukambwe.
6
Siryetaba nabo mu nkiiko zaabwe, wadde okwegatta nabo mu nkuŋŋaana zaabwe, kubanga mu busungu bwabwe, batta abasajja, era mu ddalu lyabwe, baatema ente enteega.
7
Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; n'ekiruyi kyabwe kikolimirwe, kubanga kikambwe. Ndibagabanyaamu mu Yakobo, ndibasaasaanyiza mu Yisirayeli.
8
“Ggwe Yuda, baganda bo banaakutenderezanga. Abalabe bo onoobakwatanga obulago. Baganda bo banaakuvuunamiranga.
9
Yuda oli ng'empologoma ento: okomyewo mwana wange, ng'ova mu kuyigga. Okutamye n'obwama ng'empologoma ensajja, oba ng'empologoma enkazi. Ani anaakugolokosa?
10
Yuda ye anaakwatanga omuggo ogw'obwakabaka, era bazzukulu be, be banaafuganga, okutuusa nnannyini bwakabaka lw'alijja. Era oyo abantu gwe banaawuliranga.
11
Alisiba omwana gw'embalaasi ye ku muzabbibu, n'endogoyi ye ento ku muzabbibu ogusinga obulungi. Ayoza ebyambalo bye mu mwenge omumyufu ogw'emizabbibu.
12
Amaaso ge ganaamyukanga olw'okunywa omwenge gw'emizabbibu, n'amannyo ge ganaatukulanga, olw'okunywa amata.
13
“Zebbulooni anaabeeranga kumpi n'ennyanja. Olubalama lwe lunaabanga mwalo gw'amaato. Ensalo ye eneebanga ku Sidoni.
14
“Yissakaari ye ndogoyi ey'amaanyi, egalamira mu bisibo by'endiga.
15
Alaba ng'ekifo ekiwummulirwamu kirungi, era nga n'ensi yeesiimisa, n'akutamya ekibegabega kye okwetikka, n'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu.
16
“Daani, ng'ekimu ku bika bya Yisirayeli, aneeramuliranga abantu be.
17
Daani anaabanga omusota mu kkubo, ogubojja embalaasi ebinuulo, agyebagadde n'awanukako n'agwa.
18
“Nkulindiridde ondokole, ayi Mukama.
19
Gaadi alizindibwa ekibinja ky'abanyazi, naye alibalumba n'abawondera.
20
“Ettaka lya Aseri linaabanga ggimu eribaza emmere. Anaaleetanga enva ezisaanira kabaka.
21
Nafutaali ye mpeewo etaayaaya, ezaala abaana baayo abalungi.
22
“Yosefu gwe muti ogubala ennyo, oguli okumpi n'ensulo y'amazzi, amatabi gaagwo gaagaagadde waggulu w'ekisenge.
23
Abalabe be bamulumba n'obukambwe, ne bamulasa n'obusaale bwabwe, era ne bamuyigganya.
24
Naye omutego gwe ne gunywerera ddala, emikono gye ne giweebwa amaanyi agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo, Omusumba era Omukuumi wa Yisirayeli.
25
Oyo Ye Katonda wa kitaawo, era Ye anaakuyambanga. Ye Muyinzawaabyonna anaakuwanga omukisa n'emikisa egiva waggulu mu ggulu, n'emikisa egiva wansi mu ttaka, n'emikisa egy'okuzaala n'okuyonsa.
26
Emikisa gya kitaawo, gisingira ddala emikisa egy'oku nsozi ez'olubeerera n'ebirungi eby'oku busozi obutaggwaawo. Emikisa egyo gibeerenga ku mutwe gwa Yosefu, ku bisige by'oyo eyayawulibwa ku baganda be.
27
“Benyamiini gwe musege ogunyaga. Ku makya anaalyanga by'ayizze, akawungeezi anaagabananga by'anyaze.”
28
Ebyo byonna bye bika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli, era ebyo bye bigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu ku bo omukisa ogwamusaanira.
29
Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti: “Ŋŋenda okutwalibwa eri bajjajjange. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efurooni Omuhiiti,
30
e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu yagula empuku eyo wamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, ebe obutaka obw'okuziikangamu.
31
Omwo mwe baaziika Aburahamu ne Saara mukazi we, mwe baaziika ne Yisaaka ne mukazi we Rebbeeka, era omwo mwe baaziika Leeya.
32
Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku Bahiiti.”
33
Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50