bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 20
Genesis 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 21 →
1
Awo Aburahamu n'ava e Mamure, n'alaga mu nsi ey'omu bukiikaddyo, n'abeera wakati wa Kadesi ne Suuri. Bwe yali mu Gerari,
2
n'agamba nti mukazi we Saara mwannyina. Awo Abimeleki, kabaka w'e Gerari, n'atuma ne bamuleetera Saara.
3
Naye Katonda n'ajjira Abimeleki ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Laba, ggwe oli mufu wa jjo olw'omukazi gwe watwala, kubanga alina bba.”
4
Naye Abimeleki yali tasembereranga Saara. Abimeleki n'agamba nti: “Mukama, onotta abantu abatalina musango?
5
Aburahamu yennyini si ye yaŋŋamba nti oyo mwannyina, era n'omukazi yennyini n'agamba nti mwannyina? Ekyo nakikola mu mutima ogutaliimu bukuusa era omulongoofu.”
6
Katonda n'amugamba mu kirooto nti: “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima omulongoofu, kyennava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako.
7
Kale kaakano zzaayo muk'omusajja. Omusajja oyo nga bw'ali mulanzi, ajja kukusabira oleme kufa. Naye bw'otoomuzzeeyo, manya nti ddala oli wa kufa, ggwe n'abantu bo bonna.”
8
Abimeleki n'agolokoka enkya ku makya, n'ayita abaweereza be bonna, n'ababuulira ebyo byonna, ne batya nnyo.
9
Awo Abimeleki n'ayita Aburahamu n'amugamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Kibi ki kye nakukola, olyoke ondeetere nze n'ab'omu bwakabaka bwange, ekibi ekyenkanidde awo? Wankola ekitagwanidde kukolebwa.”
10
Abimeleki n'ayongera okugamba Aburahamu nti: “Wagenderera ki okukola otyo?”
11
Aburahamu n'addamu nti: “Nalowooza nti mu kifo kino, tewali kutya Katonda, era nti bagenda kunzita olwa mukazi wange.
12
Era n'ekirala, Saara mwannyinaze ddala, mwana wa kitange, naye nga si wa mmange, wabula yafuuka mukazi wange.
13
Kale Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange, mbungeeterenga mu nsi engwira, ne ŋŋamba Saara nti: ‘Kino kye ky'ekisa ky'ononkoleranga: mu buli kifo mwe tunaatuukanga, ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ”
14
Awo Abimeleki n'awa Aburahamu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, era n'amuddiza mukazi we.
15
Abimeleki n'agamba nti: “Ensi eyange, yonna yiiyo, beera wonna w'oyagala.”
16
N'agamba Saara nti: “Laba mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza, nga ke kabonero akakakasa bonna b'oli nabo nti toliiko musango, era nga wejjeeredde.”
17
Awo Aburahamu n'asaba Katonda, Katonda n'awonya Abimeleki ne mukazi we n'abazaana be, ne basobola okuzaala abaana,
18
kubanga Mukama yali asibye embuto z'abakazi bonna mu maka ga Abimeleki, olwa Saara muka Aburahamu.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50