bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 42
Genesis 42
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 43 →
1
Awo Yakobo bwe yamanya nga mu Misiri eriyo eŋŋaano, n'agamba batabani be nti: “Lwaki mudda awo okutunuuliganako?
2
Mpulidde nga mu Misiri eriyo eŋŋaano. Muserengeteeyo, mutugulireyo ku ŋŋaano eneetubeesaawo, tuleme kufa njala.”
3
Awo baganda ba Yosefu ekkumi, ne baserengeta e Misiri okugulayo eŋŋaano.
4
Naye Benyamiini, muganda wa Yosefu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti sikulwa ng'akabi kamutuukako.
5
Awo batabani ba Yisirayeli ne bajja wamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga waaliwo enjala mu nsi ya Kanaani.
6
Yosefu ye yali omufuzi w'ensi ey'e Misiri, era ye yaguzanga abantu bonna abaavanga wonna mu nsi. Baganda be ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
7
Yosefu bwe yalaba baganda be, n'abategeera, naye n'abayisa nga b'atamanyi, n'ayogera nabo n'ebboggo, n'abagamba nti: “Muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva mu nsi ya Kanaani, tuzze kugula mmere.”
8
Yosefu yategeera baganda be, naye bo tebaamutegeera.
9
Yosefu n'ajjukira ebirooto, bye yaloota ku bo, n'abagamba nti: “Muli bakessi. Muzze okulaba ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe.”
10
Ne bamuddamu nti: “Nedda, mukama waffe. Naye ffe abaweereza bo, tuzze kugula mmere.
11
Ffenna tuli baana ba kitaffe omu. Ffe abaweereza bo, tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi.”
12
Yosefu n'abagamba nti: “Nedda, ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe bye muzze okulaba.”
13
Ne bagamba nti: “Ffe abaweereza bo, tuli abooluganda kkumi na babiri, nga tuli baana ba kitaffe omu, mu nsi ya Kanaani. Muganda waffe omu takyaliwo, ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano.”
14
Yosefu n'abagamba nti: “Kye kiikyo kye mbagambye nti muli bakessi.
15
Mujja kugezebwa bwe muti: nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti temujja kuva wano, wabula nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano.
16
Mutume omu ku mmwe akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.”
17
N'abateeka bonna wamu mu kkomera, okumala ennaku ssatu.
18
Ku lunaku olwokusatu, Yosefu n'agamba nti: “Ndi muntu assaamu Katonda ekitiibwa. Kale mukole kye ŋŋamba, mulyoke muwonye obulamu bwammwe.
19
Oba nga muli bantu ba mazima, omu ku baganda bammwe asigale wano mu kkomera mwe mubadde musibiddwa, naye mwe abalala mugende, ab'omu maka gammwe abafa enjala mubatwalire eŋŋaano.
20
Era mundeetere muganda wammwe asembayo obuto. Ekyo kirikakasa nti bye mwogedde bya mazima, era siribatta.” Ne bakkiriza okukola bwe batyo.
21
Ne bagambagana nti: “Mazima omusango gwatusinga olwa muganda waffe, kubanga twalaba bw'abonaabona bwe yatwegayirira, naye ffe ne tugaana okuwulira, kye tuvudde tubonaabona bwe tuti!”
22
Rewubeeni n'abaddamu nti: “Ssaabagamba nti omwana temumukolako kabi, naye mmwe ne mugaana okuwulira? Kaakano kyetuva tubonerezebwa olw'okufa kwe.”
23
Ne batamanya nga Yosefu ategedde bye boogera, kubanga baayogeranga naye nga waliwo abavvuunulira.
24
Yosefu n'ava we bali, n'akaaba amaziga. N'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusiba nga balaba.
25
Yosefu n'alagira okujjuza ensawo za baganda be eŋŋaano, n'okuddiza buli omu ensimbi ze mu nsawo ye, era n'okubawa entanda. Ne babakolera bwe batyo.
26
Ne batikka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda.
27
Omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuwa endogoyi ye ebyokulya mu kifo we baasula, n'alaba ensimbi ze ku mumwa gw'ensawo ye.
28
N'agamba baganda be nti: “Ensimbi zange bazinzirizza, ziizino mu nsawo yange.” Emitima ne gibatyemuka, ne bakankana, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky'atukoze?”
29
Bwe baatuuka eri Yakobo kitaabwe, mu nsi ya Kanaani, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako. Ne bagamba nti:
30
“Omusajja omufuzi wa Misiri yayogera naffe n'ebboggo, n'atulumiriza nti tuketta ensi ye.
31
Ne tumugamba nti: ‘Tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi.
32
Tuli abooluganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe omu. Muganda waffe omu takyaliwo. Ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano mu nsi ya Kanaani.’
33
Omusajja oyo omufuzi wa Misiri, n'atugamba nti: ‘Ku kino kwe nnaategeerera nga muli bantu ba mazima: omu ku mmwe mumuleke wamu nange, abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, abafa enjala.
34
Mundeetere muganda wammwe asembayo obuto, olwo nditegeera nga temuli bakessi, naye nga muli bantu ba mazima. Ndibaddiza muganda wammwe, era munaasuubulanga mu nsi eno!’ ”
35
Awo bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli omu n'asanga mu nsawo ye ensimbi ze, ze yasiba. Bwe baalaba ensimbi zaabwe ze baasiba, bo ne kitaabwe ne batya.
36
Yakobo kitaabwe n'agamba nti: “Mummazeeko abaana bange: Yosefu takyaliwo, ne Simyoni takyaliwo. Era kaakano mwagala okunzigyako ne Benyamiini. Ebyo byonna bibonyaabonya nze!”
37
Rewubeeni n'agamba kitaawe nti: “Bwe sirikomyawo Benyamiini gy'oli, ottanga batabani bange bombi. Munkwase, ndimukomyawo gy'oli.”
38
Naye Yakobo n'agamba nti: “Omwana wange tajja kugenda nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye, ye asigaddewo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde.”
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 43 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50