bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 44
Genesis 44
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 45 →
1
Awo Yosefu n'alagira omuwanika we nti: “Teeka mu nsawo z'abasajja emmere yonna gye bayinza okwetikka, era teeka ensimbi za buli omu ku mumwa gw'ensawo ye.
2
Teeka n'ekikopo kyange, ekya ffeeza, ku mumwa gw'ensawo ey'oyo asinga obuto, era oteekemu n'ensimbi ze z'aguzizza eŋŋaano.” Omuwanika n'akola nga Yosefu bw'amugambye.
3
Bwe bwakya enkya, abooluganda ne basiibulwa nga bali n'endogoyi zaabwe.
4
Bwe baali baakatambulako katono okuva mu kibuga, Yosefu n'agamba omuwanika we nti: “Situka ogoberere abasajja abo. Bw'onoobatuukako, ogambe nti: ‘Lwaki ebirungi mubisasuddemu ebibi? Lwaki mubbye ekikopo kya mukama wange ekya ffeeza?
5
Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu era ky'akozesa ng'alagula? Kye mukoze kibi nnyo!’ ”
6
Omuwanika bwe yabatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo.
7
Ne baddamu nti: “Ssebo, kiki ekikwogeza ebigambo ebiri ng'ebyo? Ffe abaweereza bo, tetuyinza kukola kintu ekiri ng'ekyo.
8
Olaba ensimbi ze twasanga ku mimwa gy'ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanaani, kale twandibbye tutya ffeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?
9
Ssebo, buli yenna ku ffe abaweereza bo, anaasangibwa nga ye ali nakyo, anattibwa, era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.”
10
N'agamba nti: “Kale kibe nga bwe mugambye. Wabula oyo anaasangibwa nakyo, ye anaaba omuddu wange. Mwe abalala temuubeeko musango.”
11
Awo ne batikkula mangu ensawo zaabwe, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye.
12
Omuwanika wa Yosefu n'ayaza, ng'asookera ku asinga obukulu, n'amalira ku asinga obuto. Ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamiini.
13
Abooluganda ne balyoka bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, buli omu n'atikka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
14
Yuda ne baganda be bwe baatuuka mu nnyumba ya Yosefu, ne basanga ng'akyaliyo, ne bavuunama mu maaso ge.
15
Yosefu n'abagamba nti: “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali mu kifo ng'ekyange, ddala ayinza okulagula?”
16
Yuda n'agamba nti: “Tunaakugamba ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tunaawoza tutya? Katonda azudde omusango gwaffe. Tuutuno. Kaakano tuli baddu bo, mukama wange, ffe era n'oyo asangiddwa n'ekikopo.”
17
Yosefu n'agamba nti: “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikopo, ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala mwambuke muddeyo mirembe eri kitammwe.”
18
Awo Yuda n'ajja awali Yosefu, n'agamba nti: “Mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza, nze omuddu wo, njogereko naawe. Tonsunguwalira, kubanga oli nga kabaka yennyini.
19
Mukama wange, watubuuza ffe abaddu bo nti: ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’
20
Ffe ne tukuddamu nti: ‘Tulina kitaffe mukadde, ne muganda waffe omuto, eyazaalibwa nga kitaffe akaddiye. Muganda w'omwana oyo yafa, era ye, ye yekka asigaddewo ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala nnyo.’
21
Ggwe n'olyoka otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Mumundeetere mmulabeko.’
22
Ne tukugamba, mukama wange, nti: ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga singa amuvaako, kitaawe ajja kufa.’
23
N'otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Muganda wammwe asinga obuto bw'atalijja wamu nammwe, temulikkirizibwa mu maaso gange nate.’
24
“Bwe twaddayo eri kitange omuweereza wo, ne tumutegeeza bye wayogera.
25
Kitaffe n'agamba nti: ‘Muddeeyo, mutugulire akamere.’
26
Ffe ne tugamba nti: ‘Tetuyinza kugenda, kubanga tetujja kukkirizibwa mu maaso ga musajja oli, okuggyako nga muganda waffe asinga obuto ali wamu naffe. Muganda waffe asinga obuto bw'anaagenda awamu naffe, olwo lwe tunaagenda.’
27
Kitaffe omuweereza wo n'atugamba nti: ‘Mumanyi nga mukazi wange Raakeeli yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri.
28
Omu yanvaako, ne ŋŋamba nti ddala yataagulwataagulwa ensolo enkambwe! Era siddangayo kumulabako kasookedde anvaako.
29
Bwe munanzigyako n'ono, akabi ne kamutuukako, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde!’
30
“Kale kaakano bwe ndiddayo eri kitange omuweereza wo, ng'omulenzi tali wamu nange, obulamu bwa kitaffe nga bwe buli awamu n'obw'omulenzi,
31
olulituuka, kitaffe n'alaba ng'omulenzi tali wamu naffe, talirema kufa. Olwo ffe abaddu bo, okunakuwala kwe tulireetera kitaffe omuweereza wo omukadde, kulimutta.
32
Nze omuddu wo, nze neeyama eri kitange, okukuuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango gy'oli ennaku zonna ez'obulamu bwange.’
33
Kale nno, mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza nze nsigale wano okuba omuddu wo, mu kifo ky'omulenzi, ye omulenzi addeyo wamu ne baganda be,
34
kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kulaba kabi kalituuka ku kitange.”
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 45 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50