bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 33
Genesis 33
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
1
Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja ng'ali wamu n'abasajja ebikumi bina. Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Raakeeli, n'abazaana bombi.
2
N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'asembyayo Raakeeli ne Yosefu emabega.
3
Ye yennyini n'abakulemberamu, n'avuunama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we.
4
Naye Esawu n'adduka okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amuwambaatira, n'amunywegera, bombi ne bakaaba amaziga.
5
Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti: “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti: “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omuweereza wo.”
6
Awo abazaana ne basembera nga bali wamu n'abaana baabwe, ne bavuunama.
7
Era ne Leeya n'abaana be, ne basembera, ne bavuunama. Oluvannyuma Yosefu ne Raakeeli nabo ne basembera, ne bavuunama.
8
Naye Esawu n'agamba nti: “Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye, kitegeeza ki?” Yakobo n'addamu nti: “Kya kwagala kusiimibwa mu maaso go, mukama wange.”
9
Naye Esawu n'agamba nti: “Bye nnina bimmala, muganda wange. By'olina bibe bibyo.”
10
Yakobo n'agamba nti: “Nedda, nkwegayiridde! Bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, kkiriza ekirabo ekiva mu ngalo zange, kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.
11
Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyonna kye nkuleetedde, kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, n'ampa byonna bye neetaaga.” N'amwegayirira, Esawu n'akkiriza.
12
Awo Esawu n'agamba nti: “Tukwate ekkubo, tugende, nze nja kukukulemberamu.”
13
Yakobo n'addamu nti: “Mukama wange, omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa.
14
Nkwegayiridde mukama wange, ggwe kulembera, nange omuweereza wo, najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.”
15
Esawu n'agamba nti: “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti: “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, mukama wange.”
16
Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo e Seyiri.
17
Naye Yakobo n'agenda e Sukkoti ne yeezimbirayo ennyumba, era n'akolera ensolo ze engo. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa erinnya Sukkoti.
18
Yakobo bwe yava e Paddanaraamu, n'atuuka mirembe mu kibuga kye Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanaani, n'asiisira okumpi n'ekibuga.
19
N'agula ettaka ku bazzukulu ba Hamori kitaawe wa Sekemu, ebitundu kikumi ebya ffeeza, n'asimba eweema ye.
20
N'azimbayo alutaari n'agituuma erinnya ELI ELOWE YISIRAYELI.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50