bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 7
Genesis 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 8 →
1
Mukama n'agamba Noowa nti: “Yingira mu lyato n'ab'omu nnyumba yo bonna, kubanga ndabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange, mu mulembe guno.
2
Ku buli nsolo nnongoofu, twalako musanvu musanvu: ensajja n'enkazi. Naye ku zitali nnongoofu, twalako bbiri, ensajja n'enkazi.
3
Era ne ku bibuuka mu bbanga, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi, buli kika kyabyo kiryoke kireme kuzikirira ku nsi,
4
kubanga nga wayise ennaku musanvu, nja kutonnyesa enkuba, etonnyere ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, ezikirize ku nsi ebiramu byonna bye nakola.”
5
Noowa n'akola byonna Mukama bye yamulagira.
6
Noowa yali aweza emyaka lukaaga egy'obukulu, omujjuzo gw'amazzi we gwajjira ku nsi.
7
N'ayingira mu lyato ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi b'abaana be, okuwona omujjuzo gw'amazzi.
8
Ku buli kika kya nsolo ennongoofu n'ezitali nnongoofu, ne ku buli kika ky'ebibuuka mu bbanga, n'eky'ebyewalula ku ttaka,
9
ne kubaako ebiyingira ne Noowa mu lyato bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, nga Katonda bwe yalagira Noowa.
10
Bwe waayitawo ennaku musanvu, omujjuzo gw'amazzi ne gujja ku nsi.
11
Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Noowa, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu, mu mwezi ogwokubiri, ensulo zonna ez'omu guyanja, ne zizibukuka, n'ebituli byonna eby'oku ggulu ne bigguka.
12
Enkuba n'etandika okutonnya ku nsi, okumala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro.
13
Ku lunaku olwo lwennyini, Noowa ne mukazi we ne bayingira mu lyato, wamu ne batabani baabwe Seemu, ne Haamu, ne Yafeeti, ne bakazi baabwe.
14
Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu ttale, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato.
15
Ebyayingira ne Noowa mu lyato, byali ekisajja n'ekikazi ku buli kika ky'ebiramu,
16
nga Katonda bwe yamulagira. Awo Mukama n'amuggalira munda.
17
Omujjuzo gw'amazzi ne gubeera ku nsi ennaku amakumi ana, amazzi ne geeyongera obungi, ne gasitula eryato, ne galiggya ku ttaka.
18
Amazzi ne geeyongera nnyo obungi, ne gajjuza wonna, eryato ne liseeyeeya kungulu ku go.
19
Amazzi ne gasituka nnyo, ne gabuutikira ensozi ezisingira ddala obugulumivu,
20
entikko z'ensozi ne zisigala mita musanvu wansi w'amazzi.
21
Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu ttale n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa.
22
Buli kintu ku nsi ekissa omukka, ne kifa.
23
Mukama n'azikiriza ebiramu byonna ku nsi: abantu n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Noowa n'asigalawo yekka, n'abo abaali naye mu lyato.
24
Amazzi ne gatakendeera okumala ennaku kikumi mu ataano.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50