bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 8
Genesis 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 9 →
1
Katonda n'ateerabira Noowa, n'ensolo, na buli kiramu ekyali ne Noowa mu lyato. Katonda n'akunsa embuyaga ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera.
2
Ensulo ez'ennyanja, n'ebituli eby'eggulu, ne biggalira. Enkuba n'erekera awo okutonnya,
3
amazzi ne gagenda nga gakendeera mpolampola, okumala ennaku kikumi mu ataano.
4
Ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu mu mwezi ogw'omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi z'omu Ararati.
5
Amazzi ne geeyongera okukendeera. Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, entikko z'ensozi ne zirabika.
6
Bwe waayitawo ennaku amakumi ana Noowa n'aggulawo eddirisa ly'eryato lye yakola.
7
N'atuma nnamuŋŋoona n'agenda ng'abuuka mu bbanga nga bw'adda okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi.
8
Awo Noowa n'atuma ejjiba ne lifuluma, okulaba oba ng'amazzi gakendedde ku nsi.
9
Naye kubanga amazzi gaali gakyajjudde wonna ku nsi, lyabulwa awakalu we lirinnya, ne likomawo ku lyato. Noowa n'afulumya omukono gwe n'alikwata n'aliyingiza mu lyato.
10
N'alindako ennaku endala musanvu, n'addamu okutuma ejjiba wabweru.
11
Ne likomawo olweggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzayiti mu kamwa kaalyo. Noowa n'amanya nti amazzi gakendedde ku nsi.
12
Olwo n'alinda ennaku endala musanvu, n'addamu okutumayo ejjiba nate. Ku mulundi ogwo ne litakomawo gy'ali.
13
Noowa bwe yali nga wa myaka lukaaga mu gumu, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye, amazzi gaali nga gakalidde ku nsi. Noowa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula ku buli ludda, n'alaba nga kungulu ku nsi kukalidde.
14
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu olw'omwezi ogwokubiri, ensi yali ekalidde ddala.
15
Katonda n'agamba Noowa nti:
16
“Va mu lyato, awamu ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe.
17
Fuluma wamu n'ebiramu byonna ebya buli ngeri ebiri naawe, ebibuuka mu bbanga, n'ensolo, ne byonna ebyewalula ku nsi, bizaalenga byale, bibune ku nsi yonna.”
18
Awo Noowa n'afuluma awamu ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi baabwe.
19
Buli nsolo, na buli ekyewalula ku ttaka, na buli ekibuuka mu bbanga, ne bifuluma mu lyato, nga biri mu bika byabyo.
20
Noowa n'azimbira Mukama alutaari, n'alondayo emu emu ku nsolo ne ku nnyonyi ennongoofu, n'azookya ku alutaari nga za kitambiro.
21
Akawoowo ak'ekitambiro ne kasanyusa Mukama, Mukama n'agamba munda ye nti: “Sikyaddamu kukolimira nsi olw'ebyo omuntu by'akola, kubanga ebirowoozo by'omuntu bibi okuviira ddala mu buto bwe. Sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna nga bwe nkoze kaakano.
22
Ensi ng'ekyaliwo, wanaabeerangawo okusiga n'okukungula, obunnyogovu n'ebbugumu, ekyeya n'obutiti, era n'emisana n'ekiro.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50