bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 41
Genesis 41
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 42 →
1
Emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, kabaka n'aloota. Yaloota n'alaba ng'ayimiridde ku Mugga Kiyira.
2
Ente musanvu ennungi era ennyirivu ne ziva mu mugga, ne zirya omuddo.
3
N'ente endala musanvu embi era enkovvu, ne ziziddirira, nga nazo ziva mu mugga. Ne ziyimirira ku mabbali g'omugga, awali ente ziri endala.
4
Ente embi era enkovvu ne zirya ente ziri ennungi era ennyirivu. Awo kabaka n'azuukuka.
5
Era ne yeebaka n'aloota omulundi ogwokubiri. N'alaba ebirimba by'eŋŋaano musanvu ebigimu era ebirungi, ne bimera ku kikolo kimu.
6
N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu ne bibiddirira, ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu.
7
Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba biri ebigimu era ebinene. Kabaka n'azuukuka, era n'ategeera nti abadde aloota.
8
Enkya mu makya ne yeeraliikirira, n'atumya abalaguzi bonna n'abagezigezi bonna ab'omu Misiri, n'ababuulira ebirooto bye, naye ne wataba n'omu ayinza kumuvvuunulira makulu gaabyo.
9
Awo omusenero omukulu n'agamba kabaka nti: “Olwaleero nzijukidde nga nasobya.
10
Ayi kabaka, bwe wasunguwalira abaweereza bo, nze n'omufumbiro omukulu, n'otusibira mu nnyumba y'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri,
11
twaloota ebirooto mu kiro ekimu, ng'ekirooto kya buli omu kya makulu maawufu.
12
Awamu naffe, waaliyo omulenzi Omwebureeyi, omuddu w'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri. Ne tumubuulira ebirooto byaffe, n'atuvvuunulira amakulu gaabyo, ng'ekirooto kya buli omu bwe kyali.
13
Ne biba bwe bityo nga bwe yabituvvuunulira. Nze wanziza mu bwami bwange, naye omufumbiro omukulu wamusiba omuguwa mu bulago, n'omuwanika ku muti n'afa.”
14
Kabaka n'atumya Yosefu, ne bamuggya mangu mu kkomera. Yosefu bwe yamala okwemwa, n'akyusa ebyambalo bye, n'ajja eri kabaka.
15
Kabaka n'amugamba nti: “Naloose ekirooto, era tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu gaakyo. Mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula ebirooto.”
16
Yosefu n'addamu kabaka nti: “Si nze, naye Katonda ye anaakuwa, ayi Kabaka, okuvvuunula okulungi.”
17
Awo kabaka n'agamba Yosefu nti: “Mu kirooto kyange, nabadde nnyimiridde ku mabbali g'omugga Kiyira.
18
“Ente musanvu ennyirivu era ennungi ne ziva mu mugga, ne zirya omuddo.
19
N'ente endala musanvu ennafu era embi ennyo ne ziziddirira. Nali sirabangako nte nkovvu ng'ezo, mu nsi yonna ey'e Misiri.
20
Ente ezo enkovvu era embi, ne zirya ziri ennyirivu ezaasoose.
21
Naye bwe zaamaze okuzirya, omuntu yabadde tayinza kumanya nti ziziridde, kubanga zaasigadde nkovvu nga bwe zaabadde mu kusooka. Awo ne nzuukuka.
22
“Era mu kirooto kyange, ne ndaba ebirimba by'eŋŋaano musanvu ebinene era ebirungi, ne bimera ku kikolo kimu.
23
Awo ebirimba musanvu ebiwotose, ebitono, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, ne bibiddirira, nabyo ne bimera.
24
Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebirungi. Ebirooto nabibuulidde abalaguzi, naye ne wataba ayinza kubinnyinyonnyola.”
25
Yosefu n'agamba kabaka nti: “Ebirooto byo, ayi kabaka, birina amakulu ge gamu. Katonda akutegeezezza by'agenda okukola.
26
Ente omusanvu ennungi, gye myaka musanvu. N'ebirimba omusanvu ebirungi, era gye myaka musanvu. Ebirooto byombi birina amakulu ge gamu.
27
N'ente omusanvu enkovvu era embi, ezaddirira ziri ezaasooka, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu mpeke, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, egyo myaka musanvu egy'enjala.
28
Ekyo kye nkugambye, ayi kabaka, nti Katonda akulaze by'agenda okukola.
29
Walibeerawo emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri.
30
Egyo nga giyiseewo, walibeerawo emyaka musanvu egy'enjala. N'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi y'e Misiri, era enjala erizikiriza ensi.
31
Ekyengera kiryerabirirwa ddala mu nsi, olw'enjala erikiddirira, kubanga eriba nnyingi nnyo.
32
Ekirooto okuba eky'emirundi ebiri, kitegeeza nti Katonda anywezezza ekigambo ekyo, era ajja kukituukiriza mangu.
33
“Kale nno kaakano, ayi kabaka, wandironze omusajja omujagujagu era ow'amagezi, omuwe okufuga ensi ey'e Misiri.
34
Era ayi kabaka, teekawo abakungu mu ggwanga, otereke ekitundu kimu ku bitundu bitaano eby'emmere yonna, eririmibwa mu nsi ey'e Misiri, mu myaka omusanvu egy'ekyengera.
35
Era obalagire bakuŋŋaanye emmere mu myaka egyo emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, era bagikuume.
36
Emmere eyo, ye eriba ey'okwekuumisa mu ggwanga, mu myaka omusanvu egy'enjala eribaawo mu nsi ey'e Misiri, edduukirire abantu, baleme okufa enjala.”
37
Kabaka n'abaweereza be bonna, ne basiima entegeka eyo.
38
Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Tuyinza okuzuulayo omusajja ali ng'ono, omusajja ajjudde omwoyo gwa Katonda?”
39
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nga Katonda bw'akulaze ebyo byonna, tewali n'omu mujagujagu, era wa magezi nga ggwe.
40
Ggwe onoofuganga ensi yange, era abantu bange bonna banaawuliranga by'olagira. Nze nzekka, nze nnaakusinganga okuba n'obuyinza.”
41
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Kaakano nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri.”
42
Kabaka ne yeenaanula ku ngalo empeta ye eriko akabonero k'obwakabaka, n'aginaanika Yosefu ku ngalo, n'amwambaza ekyambalo eky'olugoye olulungi, era n'amwambaza mu bulago omukuufu ogwa zaabu.
43
N'amuwa eggaali ye eyookubiri kw'aba atambulira, ne balangirira mu maaso ge nti: “Mufukamire.” Bw'atyo kabaka n'awa Yosefu okufuganga ensi yonna ey'e Misiri.
44
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nze kabaka era mu nsi ey'e Misiri tewali n'omu aligolola omukono gwe, wadde ekigere kye nga tokkirizza.”
45
Kabaka n'atuuma Yosefu erinnya Zafenati Paneya, n'amuwa Asenati, muwala wa Potifera kabona ow'e Oni, okumuwasa. Yosefu n'atalaaga ensi ey'e Misiri yonna.
46
Yosefu yali aweza emyaka amakumi asatu we yatandikira okuweereza kabaka w'e Misiri. N'ava mu lubiri lwa kabaka, n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri.
47
Mu myaka omusanvu egy'ekyengera, ensi n'ebaza emmere nnyingi.
48
Yosefu n'agikuŋŋaanyanga yonna, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere ey'omu nnimiro ezikyetoolodde.
49
Yosefu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima, kubanga yali tekyapimika.
50
Emyaka egy'enjala nga teginnatuuka, Yosefu n'afuna abaana babiri ab'obulenzi, Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira.
51
Yosefu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manasse, kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza okubonaabona kwange kwonna n'amaka ga kitange gonna.”
52
N'atuuma n'owookubiri erinnya Efurayimu, kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe mbonaabonedde.”
53
Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako.
54
Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitandika, nga Yosefu bwe yagamba. Enjala n'egwa mu nsi zonna. Naye mu nsi ey'e Misiri, mwo ng'emmere mweri.
55
Abantu b'omu Misiri yonna bwe baalumwa enjala, ne bakaabirira kabaka olw'emmere. Bonna kabaka n'abagamba nti: “Mugende eri Yosefu, ky'anaabagamba kye muba mukola.”
56
Enjala n'eba nnyingi, n'ebuna wonna mu nsi ey'e Misiri. Yosefu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano.
57
Abantu ne bavanga mu nsi zonna, ne bajja mu Misiri eri Yosefu okugula eŋŋaano, kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna.
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 42 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50