bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 19
Genesis 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 20 →
1
Bamalayika ababiri bwe baatuuka e Sodoma akawungeezi, Looti yali atudde ku mulyango gwa Sodoma. Looti bwe yabalaba, n'asituka okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka,
2
n'agamba nti: “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire omwange nze omuweereza wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya enkya, mukeere mugende.” Bo ne bagamba nti: “Nedda, tujja kusula wano ku luguudo.”
3
Bwe yamala okubawaliriza ennyo, ne bagenda naye ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye. N'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya.
4
Naye ng'abagenyi tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga Sodoma ne bazingiza ennyumba. Abantu bonna abato era n'abakulu ne bava wonna ne bajja.
5
Ne bayita Looti, ne bamubuuza nti: “Abasajja abazze ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye, obatuwe tubeebakeko.”
6
Looti n'afuluma ebweru gye bali, n'aleka ng'aggaddewo oluggi.
7
N'agamba nti: “Baganda bange, mbeegayiridde, temukola kibi kyenkanidde awo!
8
Mulabe, nnina bawala bange babiri embeerera. Ka nfulumye abo gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.”
9
Naye bo ne bagamba nti: “Vvaawo! Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Tujja kukukolako n'obukambwe n'okusinga bali.” Ne banyigiriza nnyo Looti, ne basembera okumenya oluggi.
10
Naye abasajja ababiri abaali munda, be basikayo Looti, ne bamuyingiza mu nnyumba, ne baggalawo oluggi.
11
Ne baziba amaaso g'abasajja bonna abaali ebweru, ne balemwa okuzuula oluggi we luli.
12
Awo abasajja ababiri ne bagamba Looti nti: “Bw'oba ng'olina wano abantu bo abalala, abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, bakoddomi bo, n'abalala bonna b'olina mu kibuga, baggye mu kifo kino,
13
kubanga tugenda kuzikiriza ekifo kino. Mukama awulidde okwemulugunyiza abantu bano, n'atutuma okuzikiriza Sodoma.”
14
Awo Looti n'agenda eri abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti: “Musituke mangu, muve mu kifo kino, kubanga Mukama agenda okuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne balowooza nti yali asaaga.
15
Bwe bwakya enkya, bamalayika ne bakubiriza Looti ayanguwe, nga bagamba nti: “Situka otwale mukazi wo, ne bawala bo bombi abali wano, oleme okuzikirizibwa awamu n'ekibuga eky'aboonoonyi.”
16
Looti n'alwa. Kyokka Mukama olw'okumusaasira, abasajja ne bakwata ku mukono Looti ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babatwala ebweru w'ekibuga.
17
Bwe bamala okubaggyiramu ddala, omu ku bamalayika n'agamba nti: “Mudduke, muleme okufa. Temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi. Muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”
18
Naye Looti n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, nkwegayiridde.
19
Onkwatiddwa nnyo ekisa, n'omponya okufa. Naye olusozi luli wala! Nnaaba sinnaba kutuukayo, akabi ne kantuukako, ne nfa.
20
Akabuga ako akatono okalaba? Ke kali okumpi. Nzikiriza nzirukire omwo, mponye obulamu bwange. Ndaba n'obutono katono.”
21
N'addamu nti: “Kale ekyo ky'osabye nakyo nkikirizza obutazikiriza kibuga ekyo.
22
Yanguwako oddukire omwo, kubanga siyinza kubaako kye nkola nga tonnakituukamu.” Ekibuga ekyo Looti kye yayita ekitono, kyekyava kituumibwa erinnya Zowari.
23
Enjuba yali ng'evuddeyo, Looti n'atuuka mu Zowari.
24
Awo Mukama n'atonnyesa ku Sodoma ne Gomora omuliro n'obuganga, nga biva mu ggulu,
25
n'azikiriza ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, awamu n'abantu bonna abaali mu bibuga ebyo, era n'ebimera byonna ku ttaka.
26
Looti yali akulembeddemu, naye mukazi we eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi y'omunnyo.
27
Aburahamu n'akeera enkya ku makya, n'alaga mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga Mukama,
28
n'atunuulira Sodoma ne Gomora, n'ensi ey'olusenyi, n'alengera omukka nga gunyooka ku nsi nga guli ng'ogw'ekikoomi.
29
Naye Katonda bwe yali azikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Looti mwe yabeeranga, n'ajjukira Aburahamu, n'akkiriza Looti abiveemu.
30
Looti yatya okusigala mu Zowari, kyeyava ayambuka ku lusozi, n'abeeranga mu mpuku wamu ne bawala be bombi.
31
Omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Kitaffe akaddiye, ate tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri.
32
Kale tunywese kitaffe omwenge atamiire, tulyoke twebake naye atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.”
33
Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, omuwala omukulu n'ayingira ne yeegatta naye. Kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo, n'atakimanya.
34
Ku lunaku olwaddako, omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Ekiro nze neebase naye. Era tumunywese omwenge ekiro kino, naawe weebake naye, atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.”
35
Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, n'omuwala omuto n'agenda ne yeegatta naye. Kitaabwe era yali atamidde nnyo, n'atakimanya.
36
Bwe batyo abaana ba Looti bombi abawala, ne baba embuto za kitaabwe.
37
Omuwala omukulu n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Mowaabu. Oyo ye jjajja w'Abamowaabu abaliwo na kati.
38
N'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benammi. Oyo ye jjajja w'Abammoni abaliwo na kati.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50