bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 37
Genesis 37
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 38 →
1
Yakobo n'abeeranga mu nsi ya Kanaani, kitaawe mwe yabeeranga.
2
Bino bye bifa ku maka ga Yakobo: Yosefu bwe yali nga muvubuka wa myaka kkumi na musanvu, n'alundanga endiga ne baganda be abaana ba Biliha ne Zilupa, baka kitaawe. Yosefu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga.
3
Yisirayeli yayagalanga Yosefu okusinga abaana be abalala bonna, kubanga gwe yazaala mu bukadde. N'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
4
Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bw'ayagala bo bennyini, ne bamukyawa, ne batayinza kwogeranga naye bya mirembe.
5
Awo Yosefu n'aloota ekirooto. Bwe yakibuulira baganda be, ne beeyongera okumukyawa.
6
N'abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye naloose.
7
Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
8
Baganda be ne bamugamba nti: “Olowooza nti ggwe olifuuka kabaka waffe, oba nti ggwe olitufuga?” Ne beeyongera okumukyayira ddala olw'ebirooto bye, n'olw'ebigambo bye.
9
Yosefu era n'aloota ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be, n'agamba nti: “Naloose ekirooto ekirala, mwe nalabidde enjuba n'omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binvuunamira.”
10
N'akibuulira ne kitaawe. Kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti: “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo, ffe tulijja ne tukuvuunamira?”
11
Baganda ba Yosefu ne bamukwatirwa obuggya, naye kitaawe n'akuumanga ebyo Yosefu bye yayogera.
12
Awo baganda ba Yosefu bwe baali bagenze e Sekemu okulunda eggana lya kitaabwe,
13
Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Baganda bo bali Sekemu, gye balundira eggana. Jjangu nkutume gye bali.” Yosefu n'amuddamu nti: “Nzuuno.”
14
Kitaawe n'amugamba nti: “Genda kaakano olabe oba nga baganda bo bali bulungi, era oba nga n'eggana liri bulungi, okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Heburooni. Yosefu n'atuuka e Sekemu.
15
Omusajja n'amusanga ng'atambuliratambulira mu ttale, n'amubuuza nti: “Onoonya ki?”
16
Yosefu n'addamu nti: “Nnoonya baganda bange. Nkwegayiridde, mbuulira gye balundira eggana.”
17
Omusajja n'agamba nti: “Baagenda, kubanga nabawulira nga bagamba nti: ‘Tugende e Dotani.’ ” Awo Yosefu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dotani.
18
Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne bamwekobera okumutta.
19
Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja.
20
Kale mujje tumutte tumusuule mu bumu ku bunnya. Tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe ye yamulya,’ tulabe ebirooto bye bwe biriba.”
21
Rewubeeni bwe yawulira ekyo, n'afuba okuwonya Yosefu n'agamba nti: “Tuleme okumutta.”
22
Rewubeeni era n'agamba nti: “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala abamuwonye, amuddize kitaawe.
23
Yosefu bwe yatuuka ku baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye eky'amabala amangi, kye yali ayambadde,
24
ne bamutwala, ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga temuli mazzi.
25
Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibinja ky'Abayisimayeli abava mu Gileyaadi nga balina eŋŋamiya ezeetisse envumbo n'ebyobuwoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, nga babitwala mu Misiri.
26
Yuda n'agamba nti: “Kiritugasa ki okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe?
27
Kale tumutunde mu Bayisimayeli, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
28
Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yosefu ne basika Yosefu ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu Bayisimayeli abo ebitundu amakumi abiri ebya ffeeza. Abo ne batwala Yosefu mu Misiri.
29
Rewubeeni bwe yaddayo ku bunnya n'asanga nga Yosefu taliimu, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala.
30
N'addayo eri baganda be, n'agamba nti: “Omwana taliiyo. Kale nze nadda wa?”
31
Awo ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekyambalo kya Yosefu mu musaayi gwayo.
32
Ne baweereza ekyambalo ekyo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe, ne bagamba nti: “Twazuula kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo.”
33
Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti: “Kye kyambalo eky'omwana wange. Ensolo ey'omu ttale yamulya. Awatali kubuusabuusa, Yosefu yataagulwataagulwa!”
34
Yakobo n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akungubagira omwana we.
35
Batabani be bonna ne bawala be ne bajja okumukubagiza, naye n'agaana okukubagizibwa, n'agamba nti: “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba!” N'ayongera okumukaabira amaziga.
36
Mu kiseera ekyo, Abamidiyaani baali batunze Yosefu mu Misiri, nga bamuguzizza Potifaari omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50