bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 34
Genesis 34
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 35 →
1
Awo Dina, omuwala Leeya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda okukyalira abawala Abakanaani.
2
Sekemu, mutabani wa Hamori Omuhiivi, omukulu w'ensi eyo, bwe yamulaba n'amukwata lwa mpaka, ne yeegatta naye, n'amukuza.
3
Omutima gwe ne gusikirizibwa nnyo Dina, muwala wa Yakobo, n'amwagala nnyo, era n'ayogera naye n'ekisa.
4
Sekemu n'agamba Hamori nti: “Mpasiza omuwala oyo.”
5
Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we, naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda.
6
Hamori kitaawe wa Sekemu n'afuluma, n'agenda eri Yakobo okwogera naye.
7
Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Bayisirayeli, bwe yeebaka ne muwala wa Yakobo olw'empaka, ekitagwanira kukola.
8
Hamori n'ayogera nabo nti: “Mutabani wange Sekemu ayagala muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase.
9
Era mufumbiriganwenga naffe, mutuwenga abawala bammwe, nammwe muwasenga abawala abaffe.
10
Munaabeeranga wamu naffe mu nsi yaffe, mubeerenga we mwagala, musuubulirenga muno, mwefunire ebintu.”
11
Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti: “Singa nsiimibwa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa.
12
Ebintu eby'obuko, n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabiwa, kasita mumpa omuwala okumuwasa.”
13
Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Hamori nga bakuusa, kubanga Sekemu yali asobezza ku Dina mwannyinaabwe.
14
Ne bagamba nti: “Tetuyinza kukola ekyo: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole, kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gye tuli.
15
Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mu mwe okukomolebwa.
16
Olwo tunakkiriza okubawanga abawala abaffe, naffe okuwasanga abawala abammwe. Tunaabeeranga wamu nammwe, ne tufuuka eggwanga limu.
17
Naye bwe mutakkirize kyaffe ne mukomolebwa, tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.”
18
Ebigambo byabwe ne bisanyusa Hamori ne mutabani we Sekemu.
19
Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo, yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'ennyumba ya kitaawe.
20
Hamori ne Sekemu mutabani we, ne bajja mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga kyabwe, ne boogera n'abasajja ab'omu kibuga ekyo, nga bagamba nti:
21
“Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala abaabwe, nabo tubawenga abawala abaffe.
22
Naye abasajja abo, bajja kukkiriza okubeeranga awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, lwa kino kyokka: buli musajja mu ffe bw'anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa.
23
Ente zaabwe n'ebintu byabwe, n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? Kale tukkiriziganye nabo, babeerenga wamu naffe.”
24
Abasajja bonna abaaliwo ku mulyango gw'ekibuga, ne bakkiriza ebya Hamori ne Sekemu mutabani we, buli musajja n'akomolebwa.
25
Awo ku lunaku olwokusatu, abasajja bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi bannyina ba Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna.
26
Ne battiramu Hamori ne mutabani we Sekemu, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne bavaayo.
27
Batabani ba Yakobo abalala bwe baasanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe eyasobezebwako.
28
Ne banyaga endiga n'embuzi n'endogoyi, n'ebintu byonna ebyali mu kibuga n'ebyali mu nnimiro.
29
Era ne batwala ebyobugagga byonna, ne banyaga abaana bonna abato n'abakazi bonna, ne byonna ebyali mu mayumba.
30
Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti: “Mundeetedde omutawaana! Kaakano Abakanaani n'Abaperizi n'abalala bonna ab'omu nsi eno bajja kunkyawa. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balinsaanyaawo n'amaka gange gonna.”
31
Naye bo ne baddamu nti: “Yakola kirungi okuyisa mwannyinaffe nga malaaya?”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50