bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 32
Genesis 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 33 →
1
Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
2
Yakobo bwe yabalaba, n'agamba nti: “Lino lye ggye lya Katonda.” N'atuuma ekifo ekyo erinnya Mahanayimu.
3
Awo Yakobo n'atuma ababaka okumukulemberamu eri Esawu muganda we, mu nsi ya Seyiri, mu kitundu eky'e Edomu.
4
N'abalagira nti: “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti: ‘Nabeeranga ne Labani, era mbadde naye okutuusa kaakano.
5
Era nnina ente n'endogoyi n'amagana g'endiga n'embuzi, n'abaddu n'abazaana. Era ntumye okukutegeeza mukama wange, olyoke onkwatirwe ekisa.’ ”
6
Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bagamba nti: “Twagenda eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana ng'ali n'abasajja ebikumi bina.”
7
Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu magana g'endiga n'embuzi n'ente n'eŋŋamiya.
8
N'agamba nti: “Esawu bw'anaatuukira ku kibinja ekimu n'akikuba, ekibinja ekinaasigalawo kinaawona.”
9
Awo Yakobo n'agamba nti: “Ayi Katonda wa jjajjange Aburahamu, era Katonda wa kitange Yisaaka, ayi Mukama ggwe eyaŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, ndikuluŋŋamiza buli kintu,’
10
sisaanira n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yorudaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibinja bibiri.
11
Nkwegayiridde, mponya muganda wange Esawu kubanga mmutya, sikulwa ng'ajja n'atutta ffenna, nga tataliza na bakazi wadde abaana.
12
Naye wagamba nti: ‘Ndikuluŋŋamiza buli kantu, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutayinza kubalika olw'obungi.’ ”
13
Yakobo n'asula awo ekiro ekyo, n'atoola ku bye yalina awe Esawu muganda we ekirabo:
14
embuzi enkazi ebikumi bibiri, n'ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, n'ennume amakumi abiri.
15
Eŋŋamiya ezikamibwa amata amakumi asatu n'abaana baazo, ente enkazi amakumi ana, n'eza sseddume kkumi, endogoyi enkazi amakumi abiri, n'ennume kkumi.
16
N'azikwasa abaddu be, buli ggana nga liri lyokka, n'abagamba nti: “Munkulemberemu, era mulekeewo ebbanga wakati w'eggana erimu n'eggana eddala.”
17
N'alagira eyakulemberamu nti: “Muganda wange Esawu bw'anaakusisinkana n'akubuuza nti: ‘Oli w'ani, era ogenda wa? N'ensolo ezo ezikukulembeddemu z'ani?’
18
Oddamu nti: ‘Za muweereza wo Yakobo. Kye kirabo ky'aweerezza mukama wange Esawu. Era Yakobo yennyini atuvaako mabega.’ ”
19
Era n'alagira n'owookubiri, n'owookusatu, n'abalala bonna abaagoba amagana, n'abagamba nti: “Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamusisinkana.
20
Munaagamba nti: ‘Ddala omuweereza wo Yakobo atuvaako mabega!’ ” Yakobo yagamba nti: “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, oboolyawo anannyaniriza.”
21
Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo.
22
Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomoka Omugga Yabboki.
23
N'abatwala, n'abasomosa omugga era n'asomosa ne byonna bye yalina.
24
Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala.
25
Omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoona ku bbunwe, bbunwe wa Yakobo n'awogoka ng'ameggana naye.
26
N'agamba Yakobo nti: “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'agamba nti: “Sijja kukuta wabula ng'ompadde omukisa.”
27
Omusajja n'amubuuza nti: “Erinnya lyo gwe ani?” N'addamu nti: “Yakobo.”
28
Omusajja n'agamba nti: “Tokyayitibwanga Yakobo, wabula YISIRAYELI, kubanga omegganye ne Katonda era n'abantu, era owangudde.”
29
Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Naye oli n'addamu nti: “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'aweera Yakobo omukisa mu kifo ekyo.
30
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penweli, ng'agamba nti: “Ndabaganye ne Katonda maaso na maaso, ne nsigala nga ndi mulamu!”
31
Enjuba n'emwakako, ng'ava e Penweli, ng'awenyera, olwa bbunwe we.
32
N'okutuusa kati Abayisirayeli kyebava batalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoona Yakobo.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50