bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 25
Genesis 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 26 →
1
Awo Aburahamu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketura.
2
N'amuzaalira Zimurani ne Yokusaani ne Medaani, ne Midiyaani ne Yisubaaki ne Suuwa.
3
Yokusaani n'azaala Seba ne Dedani. Abaana ba Dedani be bano: Assurimu ne Letusimu ne Lewummimu.
4
Abaana ba Midiyaani be bano: Efa, ne Eferi, ne Hanoki ne Abida ne Eluda. Abo bonna bazzukulu ba Ketura.
5
Aburahamu n'awa Yisaaka byonna bye yalina.
6
Naye Aburahamu bwe yali ng'akyali mulamu, n'awa ebirabo abaana ba bakazi be abalala be baamuzaalira. N'abasindika mu nsi ey'Ebuvanjuba, bave awali omwana we Yisaaka.
7
Aburahamu yawangaala emyaka kikumi mu nsavu mu etaano,
8
n'afa nga musajja mukadde, ow'emyaka egituukiridde, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.
9
Batabani be, Yisaaka ne Yisimayeli ne bamuziika mu mpuku ya Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nnimiro eyali eya Efurooni, omwana wa Zohari Omuhiiti.
10
Eyo ye nnimiro, Aburahamu gye yagula ku Bahiiti. Omwo Aburahamu mwe yaziikibwa, ne mukazi we Saara.
11
Aburahamu bwe yamala okufa, Katonda n'awa Yisaaka omukisa, Yisaaka n'abeeranga kumpi ne Beerulakayirooyi.
12
Yisimayeli, Agari Omumisiri omuzaana wa Saara gwe yazaalira Aburahamu,
13
yazaala abaana bano, amannya gaabwe nga galiraanyizibwa nga bwe baagenda baddiŋŋanako mu kuzaalibwa kwabwe. Nebayooti ne Kedari, ne Adubeeli ne Mibusaamu,
14
ne Misima ne Duma, ne Massa
15
ne Hadadi, ne Tema ne Yeturi ne Nafisi, ne Kedema.
16
Abo be baana ba Yisimayeli, bajjajja b'ebika kkumi na bibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baakuba eweema zaabwe.
17
Yisimayeli yafa ng'awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.
18
Bazzukulu ba Yisimayeli baabeera mu kitundu ekiri wakati wa Avila ne Suuri, ebuvanjuba bwa Misiri, ng'ogenda mu Assiriya, nga beesudde ku bazzukulu ba Aburahamu abalala.
19
Lino lye zzadde lya Yisaaka omwana wa Aburahamu:
20
Yisaaka yali awezezza emyaka amakumi ana, n'awasa muwala wa Betweli Omwarumeeni ow'e Paddanaraamu, ayitibwa Rebbeeka, mwannyina Labani.
21
Yisaaka ne yeegayirira Mukama ku lwa mukazi we, kubanga Rebbeeka yali mugumba. Mukama n'awulira okwegayirira kwe, Rebbeeka n'aba olubuto.
22
Lwali lwa balongo, era bwe baali nga tebannazaalibwa, ne bakoonaganira mu lubuto lwe. Rebbeeka n'agamba nti: “Oba bwe kiri bwe kiti, nze ndiba ntya?” N'agenda okwebuuza ku Mukama.
23
Mukama n'agamba nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. Olizaala ebika bibiri ebyawukanye. Ekimu kinaasinzanga ekirala amaanyi, omukulu ye anaaweerezanga omuto.”
24
Awo ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala abalongo ab'obulenzi.
25
Omubereberye n'afuluma nga mumyufu, ng'olususu lwe luli ng'ekyambalo eky'ebyoya. Ne bamutuuma erinnya Esawu.
26
Oluvannyuma n'owookubiri n'afuluma, ng'omukono gwe gukutte ku kisinziiro kya Esawu. Ne bamutuuma erinnya Yakobo. Rebbeeka yabazaala nga Yisaaka awezezza emyaka nkaaga.
27
Abalenzi ne bakula, Esawu n'afuuka omuyizzi omukugu, omusajja anyumirwa eby'omu ttale. Ye Yakobo yali musajja muteefu, eyasigalanga awaka.
28
Yisaaka yasinga kwagala Esawu, kubanga yalyanga ku nsolo Esawu ze yayigganga. Naye Rebbeeka yasinga kwagala Yakobo.
29
Lwali lumu Yakobo n'afumba omugoyo, Esawu n'akomawo eka ng'ava mu ttale, ng'enjala emuluma.
30
N'agamba Yakobo nti: “Enjala enzita! Mpa ndye ku mugoyo ogwo omumyufu.” Kyebaava bamuyita Edomu.
31
Yakobo n'addamu nti: “Sooka onguze obukulu bwo obw'obuggulanda.”
32
Esawu n'agamba nti: “Nzuuno mbulako katono okufa. Obukulu bulingasa ki?”
33
Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira kaakano nti obukulu bwo obunguzizza.” Esawu n'amulayirira, n'aguza Yakobo obukulu bwe.
34
Awo Yakobo n'awa Esawu omugaati n'omugoyo gw'ebijanjaalo. Esawu n'alya era n'anywa, n'asituka n'agenda. Bw'atyo Esawu bwe yanyoomoola obukulu bwe.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50