bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 22
Genesis 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'ageza Aburahamu, n'amuyita nti: “Aburahamu!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno!”
2
Katonda n'agamba nti: “Twala omwana wo Yisaaka, gw'olina omu yekka era gw'oyagala, ogende mu nsi Moriya, omuweereyo eyo abe ekitambiro ekyokebwa, ku lusozi lwe ndikulaga.”
3
Enkeera ku makya, Aburahamu n'agolokoka, n'ayasa enku ez'okwokya ekitambiro, n'ategeka endogoyi ye, n'atwala babiri ku baweereza be, ne Yisaaka omwana we, n'alaga mu kifo Katonda kye yamutegeezaako.
4
Ku lunaku olwokusatu, Aburahamu n'ayimusa amaaso ge n'alengera ekifo ekyo.
5
N'agamba abaweereza be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugende wali, tusinze, n'oluvannyuma tudde gye muli.”
6
Aburahamu n'addira enku ez'okwokya ekitambiro, n'azitikka Yisaaka, omwana we, ye n'atwalira omuliro n'akambe mu ngalo ze, ne bagenda wamu bombi.
7
Yisaaka n'agamba Aburahamu kitaawe nti: “Taata!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno, mwana wange.” Yisaaka n'agamba nti: “Laba, omuliro n'enku biibino. Naye omwana gw'endiga ogw'okutambira guluwa?”
8
Aburahamu n'addamu nti: “Mwana wange, Katonda ye aneetegekera endiga ento ey'okutambira.” Bombi ne batambula ne beeyongerayo.
9
Bwe baatuuka mu kifo, Katonda we yamugamba, Aburahamu n'azimba alutaari, n'ayaliirako enku, n'asiba Yisaaka omwana we, n'amugalamiza ku alutaari ku nku.
10
N'agolola omukono gwe, n'akwata akambe okutta omwana we.
11
Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'asinziira mu ggulu, n'agamba nti: “Aburahamu!” N'addamu nti: “Nzuuno!”
12
N'agamba nti: “Omulenzi tomutta era tomukolako kabi. Kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo omu yekka.”
13
Aburahamu ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba emabega we endiga ennume, ng'amayembe gaayo gawambidde mu kisaka. N'agenda n'agiggyayo, n'agiwaayo ebe ekitambiro ekyokebwa, mu kifo ky'omwana we.
14
Aburahamu n'atuuma ekifo ekyo erinnya “Mukama ategeka.” Ne leero abantu bagamba nti: “Ku lusozi oluyitibwa ‘Mukama ategeka.’ ”
15
Awo malayika wa Mukama n'ayita Aburahamu omulundi ogwokubiri, ng'asinziira mu ggulu,
16
n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndayidde mu linnya lyange, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka,
17
ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era bazzukulu bo baliwangula abalabe baabwe.
18
Mu bazzukulu bo, amawanga gonna ag'oku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga owulidde ekiragiro kyange.’ ”
19
Awo Aburahamu n'addayo eri abaweereza be, ne basituka, ne bagenda bonna wamu e Beruseba, Aburahamu n'abeeranga eyo.
20
Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Aburahamu nti ne Milika yazaalira muganda we Nahori abaana:
21
Wuzi omwana we omubereberye, ne Buzi muganda we; ne Kemweli kitaawe wa Aramu,
22
ne Kesedi, ne Hazo, ne Piludaasi, ne Yidulaafu, ne Betweli.
23
Betweli ye kitaawe wa Rebbeeka. Abo be baana omunaana, Milika be yazaalira Nahori muganda wa Aburahamu.
24
Rewuma, omuzaana wa Nahori, naye n'azaala Teba ne Gahamu ne Tahasi, ne Maaka.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50