bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 26
Genesis 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 27 →
1
Ne wagwa enjala mu nsi, eteri eyo ey'olubereberye eyagwa mu biro bya Aburahamu. Yisaaka n'agenda eri Abimeleki, kabaka w'Abafilistiya mu Gerari.
2
Mukama n'alabikira Yisaaka, n'agamba nti: “Toserengeta mu Misiri, sigala mu nsi eno, gye nakugamba okubeeramu.
3
“Beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa. Ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo, ebitundu bino byonna eby'ensi. Nnaatuukirizanga ekirayiro, kye nalayirira kitaawo Aburahamu.
4
Ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu era ndibawa ebitundu bino byonna eby'ensi.
5
Era mu bazzukulu bo, amawanga gonna ku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga Aburahamu yawuliranga bye namukuutiranga, era yakwatanga amateeka gange gonna n'ebiragiro byange.”
6
Yisaaka n'abeera e Gerari.
7
Abasajja baayo bwe baamubuuza ku mukazi we, n'agamba nti mwannyina, kubanga yatya okwogera nti mukazi we, abasajja baayo baleme okumutta olwa Rebbeeka, eyali omulungi ennyo mu ndabika ye.
8
Yisaaka bwe yali ng'amazeeyo ennaku nnyingiko, Abimeleki kabaka w'Abafilistiya n'atunula mu ddirisa, n'alaba Yisaaka ng'azannya ne Rebbeeka mukazi we.
9
Abimeleki n'ayita Yisaaka, n'agamba nti: “Ddala ono mukazi wo. Kale lwaki wagamba nti mwannyoko?” Yisaaka n'amugamba nti: “Nalowooza nti bajja kunzita olw'okubeera ye.”
10
Abimeleki n'agamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Omu ku basajja bange yandisobodde okwebaka ne mukazi wo, n'otuleetera omusango.”
11
Abimeleki n'akuutira abantu bonna nti: “Buli alikwata ku musajja oyo, oba ku mukazi we, wa kuttibwa.”
12
Awo Yisaaka n'asiga mu nsi eyo, n'akungula bya mirundi kikumi mu bye yasiga mu mwaka ogwo, kubanga Mukama yamuwa omukisa.
13
Omusajja n'afuna ebintu, ne byeyongera nnyo, n'afuuka mugagga.
14
Era kubanga yalina amagana g'ente n'endiga n'embuzi, era n'abaddu bangi, Abafilistiya ne bamukwatirwa obuggya.
15
Awo ne baziba enzizi zonna, abaddu ba kitaawe Aburahamu ze baasima nga Aburahamu akyali mulamu, ne bazijjuzaamu ettaka.
16
Abimeleki n'agamba Yisaaka nti: “Va mu nsi yaffe, kubanga ofuuse wa maanyi okutusinga.”
17
Awo Yisaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerari, n'abeera eyo.
18
N'ayerula enzizi ezaali zisimiddwa, nga Aburahamu akyali mulamu, Abafilistiya ze baaziba nga Aburahamu amaze okufa. Yisaaka n'aziyita amannya ago gennyini, kitaawe ge yazituuma.
19
Awo abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi mu kiwonvu, ne bazuula amazzi amalungi.
20
Abasumba ab'e Gerari ne bakaayana n'abasumba ba Yisaaka, nga bagamba nti: “Amazzi gano gaffe.” Yisaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki, kubanga baakaayana naye.
21
Abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira. N'alutuuma erinnya Situna.
22
N'ajjulukukayo, n'asima oluzzi olulala. Olwo lwo ne batalukaayanira, n'alutuuma erinnya Rehoboti. N'agamba nti: “Kaakano Mukama atugaziyizza, tujja kwala mu nsi.”
23
N'avaayo n'ayambuka e Beruseba.
24
Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo Aburahamu. Totya, kubanga nze ndi wamu naawe, nnaakuwanga omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi, olw'omuweereza wange Aburahamu.”
25
Yisaaka n'azimba eyo alutaari, n'asinza Mukama. N'asimbayo eweema ye, era abasajja be ne basimayo oluzzi.
26
Awo Abimeleki n'ava mu Gerari, ng'ali wamu ne Ahuzati mukwano gwe, ne Fikoli omuduumizi w'amagye ge, ne bagenda eri Yisaaka.
27
Yisaaka n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi, nga mwankyawa era nga mwangoba mu nsi yammwe?”
28
Ne baddamu nti: “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe, nti
29
ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.”
30
Awo Yisaaka n'abafumbira embaga, ne balya ne banywa.
31
Ne bagolokoka enkeera mu makya, ne bakola obweyamo ku buli ludda. Yisaaka n'abasiibula, ne baawukana naye mirembe.
32
Ku lunaku olwo, abasajja ba Yisaaka ne bajja ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bagamba nti: “Tuzudde amazzi.”
33
N'alutuuma erinnya Beruseba n'okutuusa kati.
34
Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'awasa Yudita muwala wa Beeri Omuhiiti. N'awasa ne Basemati muwala wa Eloni era Omuhiiti,
35
ne bakalubya obulamu bwa Yisaaka ne Rebbeeka.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50