bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 30
Genesis 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 31 →
1
Raakeeli bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, n'akwatirwa muganda we obuggya, n'agamba Yakobo nti: “Mpa abaana, oba si ekyo nja kufa.”
2
Yakobo n'asunguwalira Raakeeli n'agamba nti: “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?”
3
Raakeeli n'agamba nti: “Omuzaana wange Biliha wuuno, weebake naye, alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye.”
4
N'amuwa Biliha omuzaana we, abe mukazi we. Yakobo ne yeegatta ne Biliha,
5
Biliha n'aba olubuto n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.
6
Raakeeli n'agamba nti: “Katonda asaze omusango ku lwange, era awulidde eddoboozi lyange, n'ampa omwana ow'obulenzi.” Kyeyava amutuuma erinnya Daani.
7
Biliha omuzaana wa Raakeeli, n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri.
8
Raakeeli n'agamba nti: “Mmegganye ne muganda wange ebigwo eby'amaanyi era mpangudde.” N'amutuuma erinnya Nafutaali.
9
Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zilupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo abe mukazi we.
10
Zilupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.
11
Leeya n'agamba nti: “Mbadde wa mukisa!” N'amutuuma erinnya Gaadi.
12
Zilupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri.
13
Leeya n'agamba nti: “Nsanyuse, kubanga abakazi banampitanga musanyufu.” N'amutuuma Aseri.
14
Mu biseera eby'amakungula g'eŋŋaano, Rewubeeni n'alaga mu nnimiro, n'azuulayo ebimera ebiyitibwa mandurake, n'abireetera Leeya, nnyina. Awo Raakeeli n'agamba Leeya nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mandurake g'omwana wo.”
15
Leeya n'amuddamu nti: “Okunzigyako baze tekimala? Kaakano oyagala n'okunzigyako amandurake g'omwana wange?” Raakeeli n'amugamba nti: “Bw'ompa amandurake g'omwana wo, Yakobo aneebaka naawe ekiro kino.”
16
Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti: “Ojja kwebaka nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amandurake g'omwana wange okukugula.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo.
17
Katonda n'awulira okusaba kwa Leeya. Leeya n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookutaano.
18
Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma Yissakaari.
19
Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga.
20
Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi. Kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya Zebbulooni.
21
Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma erinnya Dina.
22
Katonda n'ajjukira Raakeeli. Katonda n'awulira okusaba kwa Raakeeli n'amuwa okuzaala.
23
Raakeeli n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, era n'agamba nti: “Katonda anzigyeeko okuvumibwa.”
24
N'amutuuma erinnya Yosefu ng'agamba nti: “Mukama annyongere omwana omulala ow'obulenzi.”
25
Awo Raakeeli bwe yamala okuzaala Yosefu, Yakobo n'agamba Labani nti: “Nsiibula nzireyo ewaffe, era mu nsi y'ewaffe.
26
Mpa bakazi bange n'abaana bange, be nakuweererezanga, ndyoke ŋŋende, kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.”
27
Labani n'amugamba nti: “Singa onzikiriza okwogera kino: ndaguddwa ne nzuula nti Mukama yampa omukisa olw'okubeera ggwe.
28
Nsalira empeera yo, ngikuwe.”
29
Yakobo n'agamba nti: “Ggwe wennyini omanyi bwe nakuweerezanga, era n'amagana go bwe gaali, nga nze ngalabirira.
30
Walina matono nga sinnajja, naye kaakano geeyongedde obungi, era Mukama yakuwa omukisa buli gye nagendanga yonna. Naye kaakano ndifuna ddi nange eby'amaka gange?”
31
Labani n'abuuza nti: “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'addamu nti: “Toliiko ky'onompa. Nja kwongera okulabirira amagana go, singa ononkolera kino:
32
Ka mpite mu magana go gonna olwaleero, nga ŋŋenda nzigyamu buli ndiga na buli mbuzi eya bitanga n'ey'amabalabala, na buli ndiga nto enzirugavu. Ezo ze zinaaba empeera yange.
33
Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya mabala, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.”
34
Labani n'agamba nti: “Kale nzikirizza ky'ogambye.”
35
Naye ku lunaku olwo, Labani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna ez'amabalabala n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira.
36
N'agenda nazo, ne yeesuula Yakobo ebbanga lya lugendo lwa nnaku ssatu. Yakobo n'alabirira amagana ga Labani agaasigalawo.
37
Yakobo n'addira obuti obw'omupopulaari omubisi n'obw'omulumondi n'obw'omupulaane n'abususumbulako ebikuta ebimu, ne bubaamu ennyiriri enjeru.
38
Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'amagana mu byesero, amagana we gajja okunywa, kubanga ensolo zaawakanga nga zizze okunywa.
39
Awo bwe zaawakanga nga zitunuulidde obuti obwo, nga zizaala eza biwuuga n'ez'amabalabala n'eza bitanga.
40
Yakobo n'ayawula endiga n'embuzi, era ensolo ezo n'azitereeza ne zitunuulira eza biwuuga oba enzirugavu ez'omu ggana lya Labani. Bw'atyo n'ayawula eggana erirye, n'ataligatta na lya Labani.
41
Awo ez'amaanyi bwe zaabanga ziwaka, Yakobo n'ateeka obuti mu byesero mu maaso g'eggana, ziwakire we buli.
42
Naye bwe zaabanga ennafu, teyabuteekangawo. N'olwekyo ensolo enafu ze zaabanga eza Labani, ez'amaanyi nga ze ziba eza Yakobo.
43
Bw'atyo omusajja Yakobo n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'amagana mangi, n'abazaana, n'abaddu, n'eŋŋamiya, n'endogoyi.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50