bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 23
Genesis 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 24 →
1
Saara yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu,
2
n'afiira mu Kiriyati-Aruba, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu n'amukungubagira, n'amukaabira amaziga.
3
Awo Aburahamu n'asituka n'ava awali omulambo gwa mukazi we, n'agenda eri Abahiiti, n'agamba nti:
4
“Ndi mugwira era musenze mu nsi yammwe. Munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.”
5
Abahiiti ne bamuddamu nti:
6
“Wulira kye tugamba, ssebo. Gwe oli mukungu mukulu mu ffe. Ziika omufu wo mu ntaana gy'oneeroboza mu zonna ze tulina. Tewali n'omu mu ffe anaakumma entaana gy'alina, wadde okukuziyiza okuziikamu omufu wo.”
7
Awo Aburahamu n'asituka n'avuunamira Abahiiti,
8
n'abagamba nti: “Bwe musiima nziike omufu wange, munneegayiririre Efurooni mutabani wa Zohari,
9
anguze empuku gy'alina eya Makupela, ekomerera ku nnimiro ye, agingulize wano mu maaso gammwe, ku muwendo gwayo omujjuvu, ebe obutaka bwange obw'okuziikangamu.”
10
Ne Efurooni yennyini yali atudde wamu n'Abahiiti abalala, mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga. Efurooni n'addamu ng'abaliwo bonna bawulira nti:
11
“Nedda, ssebo, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna, n'empuku ebirimu, mbikuwadde. Mbikuweeredde wano mu maaso g'abantu bange, oziikemu omufu wo.”
12
Awo Aburahamu n'avuunama mu maaso g'Abahiiti.
13
N'agamba Efurooni nga bannansi bawulira nti: “Nkwegayiridde, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna nja kugigula buguzi. Kkiriza ngisasule, nziikemu omufu wange.”
14
Efurooni n'addamu Aburahamu nti:
15
“Ssebo, wulira kye ŋŋamba. Akataka akagula ebitundu bya ffeeza ebikumi bina byokka, kakutawaanyiza ki? Ziikamu omufu wo.”
16
Aburahamu n'akkiriza, n'apimira Efurooni ffeeza gwe yali ayogedde ng'Abahiiti bawulira: ebitundu ebikumi bina ebya ffeeza, ng'akozesa ekipimo ky'abasuubuzi.
17
Bw'etyo ennimiro ya Efurooni ey'e Makupela mu buvanjuba bwa Mamure, omwali empuku n'emiti gyonna, okutuukira ddala ennimiro gy'ekoma, bwe byafuuka ebya Aburahamu.
18
Abahiiti bonna abaali mu lukuŋŋaana ku mulyango gw'ekibuga, ne bakakasa nga bw'eri eya Aburahamu.
19
Ebyo bwe byaggwa, Aburahamu n'aziika mukazi we Saara mu mpuku y'omu nnimiro y'e Makupela, mu buvanjuba bwa Mamure, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani.
20
Ennimiro n'empuku ebirimu, ebyali eby'Abahiiti, ne bifuukira ddala ebya Aburahamu eby'okuziikangamu abafu be.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50