bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 21
Genesis 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 22 →
1
Mukama n'awa Saara omukisa, nga bwe yali asuubizza.
2
Saara n'aba olubuto, n'azaalira Aburahamu omwana ow'obulenzi nga Aburahamu akaddiye, mu biro Katonda bye yamutegeezaako.
3
Aburahamu n'atuuma omwana oyo erinnya Yisaaka.
4
Yisaaka bwe yaweza ennaku omunaana, Aburahamu n'amukomola, nga Katonda bwe yamulagira.
5
Aburahamu yali awezezza emyaka kikumi, omwana we Yisaaka okuzaalibwa.
6
Saara n'agamba nti: “Katonda ansesezza. Buli anaawuliranga kino, anaasekeranga wamu nange.”
7
Era n'agamba nti: “Ani eyandigambye Aburahamu nti Saara oliyonsa abaana? Naye kati mmuzaalidde omwana ow'obulenzi, nga Aburahamu akaddiye.”
8
Omwana Yisaaka n'asuumuka n'ava ku mabeere, era ku lunaku lwe yaviirako ku mabeere, Aburahamu n'afumba embaga nnene.
9
Awo Saara n'alaba Yisimayeli, omwana Agari gwe yazaalira Aburahamu, ng'azannya ne Yisaaka.
10
Saara n'agamba Aburahamu nti: “Goba omuzaana ono n'omwana we, kubanga omwana w'omukazi ono omuzaana tajja kugabana ku bya busika bwa mwana wange Yisaaka.”
11
Ekyo ne kinakuwaza nnyo Aburahamu, kubanga ne Yisimayeli mwana we.
12
Naye Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Leka kunakuwala olw'omulenzi n'olw'omuzaana wo. Kola byonna Saara by'akugamba, kubanga mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu be nakusuubiza.
13
Era omwana w'omuzaana naye ndimufuula eggwanga, kubanga naye mwana wo.”
14
Aburahamu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde amazzi, n'abiwa Agari ng'abimuteeka ku kibegabega, n'omwana, n'amugamba nti: “Genda.” Agari n'agenda, n'abundabundira mu ddungu ery'e Beruseba.
15
Amazzi bwe gaggwaamu mu nsawo ey'eddiba, n'assa omwana mu kisaka,
16
n'agenda n'atuula walako ng'amutunuulira, mu bbanga lya mita nga kikumi, kubanga yagamba nti: “Ka nneme okulaba omwana ng'afa!” Bwe yatuula n'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba.
17
Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi, era malayika wa Katonda n'ayita Agari ng'asinziira mu ggulu, n'amugamba nti: “Obadde ki, Agari? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi.
18
Situka ositule omulenzi omukwate mu mikono gyo. Ndimufuula eggwanga eddene.”
19
Awo Katonda n'azibula amaaso ga Agari, n'alaba oluzzi. N'agenda, n'ajjuza ensawo ey'eddiba amazzi, era n'awa omulenzi okunywa.
20
Katonda n'aba wamu n'omulenzi. Omulenzi n'akula, n'abeeranga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale.
21
Mu ddungu ery'e Palani, gye yabeeranga. Nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
22
Awo mu biro ebyo Abimeleki ng'ali wamu ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye, n'agenda eri Aburahamu n'amugamba nti: “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola.
23
Kale nno ndayirira wano mu maaso ga Katonda nti tonkuusekuusenga nze n'abaana bange, wadde bazzukulu bange. Naye nga bwe nkukoledde eby'ekisa, ndayirira nti onookolanga bw'otyo gye ndi n'eri ensi mw'oli.”
24
Aburahamu n'agamba nti: “Ndayira.”
25
Awo Aburahamu ne yeemulugunyiza Abimeleki olw'oluzzi, abaweereza ba Abimeleki lwe baamuggyako olw'empaka.
26
Abimeleki n'agamba nti: “Eyakola ekyo simumanyi, naawe tokimbuulirangako. Olwaleero lwe nsoose okukiwulira.”
27
Aburahamu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimeleki, ne bakola bombi endagaano.
28
Aburahamu n'ayawulamu mu kisibo kye endiga enduusi musanvu.
29
Abimeleki n'amubuuza nti: “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko, zitegeeza ki?”
30
Aburahamu n'addamu nti: “Kkiriza nkuwe endiga ezo enduusi omusanvu, ekyo kiryoke kikakase ng'okkirizza nti nze nasima oluzzi olwo.”
31
Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira.
32
Bwe baamala okukola endagaano e Beruseba, Abimeleki ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye ne baddayo mu nsi y'Abafilistiya.
33
Aburahamu n'asimba omuti omunyulira mu Beruseba, n'asinziza eyo Mukama Katonda ow'emirembe gyonna.
34
Aburahamu n'abeera mu nsi y'Abafilistiya, ebbanga ddene.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50