bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 11
Genesis 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 12 →
1
Ensi yonna yalina olulimi lumu n'ebigambo bye bimu ebyogerwa.
2
Abantu bwe baali nga basenguka okuva ebuvanjuba, ne basanga olusenyi mu nsi y'e Sinaari, ne basenga omwo.
3
Ne bagambagana nti: “Tubumbe amatoffaali, tugookye nnyo gagume.” Awo ne baba n'amatoffaali, mu kifo ky'amayinja, ne bagasibisa obudongo, mu kifo ky'ennoni.
4
Ne bagamba nti: “Twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka ku ggulu, twekolere erinnya, era tuleme kusaasaanyizibwa ku nsi yonna.”
5
Awo Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abantu bye bazimba.
6
Mukama n'agamba nti: “Laba bano bonna bali bumu, era boogera olulimi lumu. Eno nno ye ntandikwa y'ebyo bye balikola. Tewali kye baagala kukola kiribalema.
7
Kale tukke tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8
Awo Mukama n'abasaasaanya ku nsi yonna, ne balekera awo okuzimba ekibuga.
9
Ekibuga ekyo ne kiyitibwa Babeeli, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi yonna, era okuva awo, n'asaasaanya abantu ku nsi yonna.
10
Bano be bazzukulu ba Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi, n'azaala Arupakusaadi, nga wayiseewo emyaka ebiri okuva ku mujjuzo gw'amazzi.
11
Seemu n'awangaala emyaka emirala ebikumi bitaano, ng'amaze okuzaala Arupakusaadi, era n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12
Arupakusaadi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu etaano, n'azaala Seela.
13
Bwe yamala okuzaala Seela, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14
Seela bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Eberi.
15
Bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16
Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena, n'azaala Pelegi.
17
Bwe yamala okuzaala Pelegi, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu asatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18
Pelegi bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Rewu.
19
Bwe yamala okuzaala Rewu, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20
Rewu bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri, n'azaala Serugi.
21
Rewu bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22
Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Nahori.
23
Serugi bwe yamala okuzaala Nahori, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24
Nahori bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda, n'azaala Teera.
25
Nahori bwe yamala okuzaala Teera, n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26
Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n'azaala Aburaamu ne Nahori ne Harani.
27
Bano be bazzukulu ba Teera, kitaawe wa Aburaamu ne Nahori ne Harani. Harani yazaala Looti.
28
Harani yafiira mu kibuga ky'ewaabwe Wuuri eky'Abakaludaaya, nga kitaabwe akyali mulamu.
29
Aburaamu n'awasa Saraayi, ne Nahori n'awasa Milika, muwala wa Harani era kitaawe wa Yisuka.
30
Saraayi yali mugumba, nga talina mwana.
31
Teera n'atwala mutabani we Aburaamu ne muzzukulu we Looti, mutabani wa Harani, ne mukaamwana we Saraayi, muka Aburaamu, n'ava nabo mu kibuga Wuuri eky'Abakaludaaya, bagende mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka e Harani, ne basenga eyo.
32
Teera n'afiira eyo nga wa myaka ebikumi bibiri mu etaano.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50