bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 48
Genesis 48
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 49 →
1
Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Yosefu nti: “Kitaawo mulwadde.” Yosefu n'agenda wamu ne batabani be bombi Manasse ne Efurayimu, okulaba Yakobo.
2
Ne bategeeza Yakobo nti: “Omwana wo Yosefu azze okukulaba.” Yakobo ne yeekakaba, n'atuula ku kitanda.
3
N'agamba Yosefu nti: “Katonda Omuyinzawaabyonna yandabikira e Luuzi mu nsi ya Kanaani, n'ampa omukisa,
4
n'aŋŋamba nti: ‘Ndikuwa abaana bangi, bazzukulu bo ne mbafuula amawanga mangi. Era ndiwa bazzukulu bo ensi eno, ebe yaabwe emirembe gyonna.’
5
Kaakano batabani bo bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri, nga sinnajja gy'oli mu Misiri, bange. Efurayimu ne Manasse banaabanga batabani bange nga Rewubeeni ne Simyoni bwe bali.
6
Abaana b'olizaala ne badda ku bano, be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo.
7
Kino nkikoze olwa nnyoko Raakeeli. Bwe nali nga nva mu Paddani, yanfaako mu nnaku ey'ekitalo, mu nsi ya Kanaani, mu kkubo, nga wakyasigaddeyo ebbanga okutuuka mu Efuraati, ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda mu Efuraati, ye Betilehemu.”
8
Yisirayeli bwe yalaba batabani ba Yosefu, n'abuuza nti: “Bano be baani?”
9
Yosefu n'addamu kitaawe nti: “Be baana bange, Katonda be yampeera wano.” Yisirayeli n'agamba nti: “Baleete we ndi, mbasabire omukisa.”
10
Amaaso ga Yisirayeli gaali gazibye olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yosefu n'abamusembereza. N'abawambaatira, n'abanywegera.
11
Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Nali sirowooza nga ndiddayo okukulabako. Naye kaakano Katonda anzikirizza okulaba ne ku baana bo!”
12
Yosefu n'abaggya mu maviivi ga Yisirayeli, era n'avuunama ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
13
Yosefu n'abakwata bombi, Efurayimu mu mukono gwe ogwa ddyo, ku ludda olwa Yisirayeli olwa kkono, ne Manasse mu mukono gwe ogwa kkono, ku ludda lwa Yisirayeli olwa ddyo, n'abasembeza awali kitaawe.
14
Naye Yisirayeli n'agolola emikono gye, n'agigombeza: ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efurayimu asinga obuto, ogwa kkono n'agussa ku Manasse asinga obukulu.
15
N'asabira Yosefu omukisa, n'agamba nti: “Katonda, jjajjange Aburahamu ne kitange Yisaaka gwe baaweerezanga, Katonda eyandabiriranga okuva mu buto bwange okutuusa kaakano, awe abaana bano omukisa.
16
Malayika eyannunula mu buli kabi konna, abawe omukisa. Erinnya lyange n'erya jjajjange Aburahamu, n'erya kitange Yisaaka, gatuumibwenga mu bo. Bazaale abaana bangi, bafune abazzukulu bangi nnyo ku nsi.”
17
Yosefu bwe yalaba nga kitaawe, atadde omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efurayimu, n'atasanyuka. N'akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efurayimu, okugussa ku mutwe gwa Manasse.
18
Yosefu n'agamba kitaawe nti: “Ekyo si kituufu taata, kubanga ono ye mukulu. Teeka omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19
Kyokka kitaawe n'agaana. N'agamba nti: “Mmanyi, mwana wange, mmanyi. Bazzukulu ba Manasse nabo balifuuka ggwanga, era baliba bakulu. Naye muto we ye alimusinga obukulu, era bazzukulu be balifuuka mawanga mangi.”
20
N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'agamba nti: “Mu Yisirayeli bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti: ‘Katonda akufuule nga Efurayimu ne Manasse.’ ” Bw'atyo Efurayimu n'amukulembeza Manasse.
21
Awo Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.
22
Era ekitundu eky'e Sekemu ekigimu, kye naggya ku Baamori nga nkozesa ekitala kyange n'omutego gwange, nkiwadde ggwe, sso si baganda bo.”
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 49 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50