bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 28
Genesis 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
1
Awo Yisaaka n'ayita Yakobo n'amuwa omukisa, n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Muhiiti.
2
Situka ogende e Paddanaraamu, mu maka ga jjajjaawo Betweli azaala nnyoko, weewasize omukazi ku bawala ba kojjaawo Labani.
3
Katonda Omuyinzawaabyonna akuwe omukisa, ozaale abaana bangi, ofuuke kitaawe w'amawanga amangi.
4
Era akuwe ggwe n'ezzadde lyo omukisa gwe yawa Aburahamu, osikire ensi eno gy'obaddemu, Katonda gye yawa Aburahamu.”
5
Yisaaka n'asindika Yakobo e Paddanaraamu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwarameeya era mwannyina Rebbeeka, nnyina Esawu ne Yakobo.
6
Awo Esawu n'amanya nga Yisaaka yawa Yakobo omukisa, era nga yamusindika e Paddanaraamu okwewasizaayo omukazi. Era n'amanya nti bwe yamuwa omukisa, yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanaani,
7
era nti Yakobo yawulira kitaawe ne nnyina n'agenda e Paddanaraamu.
8
Esawu bwe yategeera nga kitaawe tasiima bakazi Bakanaani,
9
n'agenda ewa Yisimayeli, omwana wa Aburahamu, n'awasa muwala we Mahalati, mwannyina Nebayooti, n'amwongera ku bakazi be abalala.
10
Yakobo n'ava mu Beruseba, n'ayolekera ekibuga Harani.
11
N'atuuka mu kifo ekimu, n'asula awo, kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alizizikako omutwe gwe, n'agalamira okwebaka.
12
N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go,
13
era Mukama ng'ayimiridde, waggulu waago, ng'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa Aburahamu jjajjaawo, era Katonda wa Yisaaka. Ensi gy'ogalamiddeko ndigikuwa ggwe ne bazzukulu bo.
14
Bazzukulu bo baliba bangi ng'enfuufu ey'oku nsi. Balibuna ebugwanjuba n'ebuvanjuba, n'ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, era mu ggwe, ne mu bazzukulu bo, ebika byonna eby'oku nsi, mwe biriweerwa omukisa.
15
Laba, ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga yonna gy'onoogendanga, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okutuukiriza ebyo bye nkugambye.”
16
Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'agamba nti: “Mazima Mukama ali mu kifo kino! Nze mbadde simanyi!”
17
N'atya n'agamba nti: “Ekifo kino nga kya ntiisa! Ekifo kino ddala ye nnyumba ya Katonda, era gwe mulyango gw'eggulu!”
18
Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'akwata ejjinja lye yazizikako omutwe gwe, n'alisimba libe ekijjukizo, n'alifukako omuzigo.
19
N'atuuma ekifo ekyo erinnya Beteli. Naye erinnya ly'ekibuga lyali Luuzi mu kusooka.
20
Awo Yakobo ne yeeyama obweyamo buno eri Mukama nti: “Bw'onoobanga awamu nange, n'onkuumanga mu lugendo lwange luno, era bw'onompanga ebyokulya n'ebyokwambala,
21
era bw'olinkomyawo emirembe mu nnyumba ya kitange, olwo onoobanga Katonda wange.
22
Ejjinja lino lye nsimbye okuba ekijjukizo, liriba nnyumba yo, ayi Katonda, era ndikuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bintu byonna by'olimpa.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50