bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 27
Genesis 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 28 →
1
Awo Yisaaka bwe yali ng'akaddiye, era ng'amaaso ge gazzeeko ekifu, nga takyasobola kulaba, n'ayita Esawu mutabani we omukulu, n'amugamba nti: “Mwana wange!” N'addamu nti: “Nzuuno.”
2
Yisaaka n'agamba nti: “Olaba bwe nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako.
3
Kale kaakano, kwata omutego gwo n'obusaale bwo bw'oyiggisa, ogende mu ttale onjiggire ensolo,
4
onfumbire ennyama ey'akaloosa gye njagala, ogindeetere ndye, ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.”
5
Rebbeeka n'awulira nga Yisaaka ayogera ne mutabani we Esawu. Esawu bwe yagenda mu ttale okuyigga ensolo n'okugireeta,
6
Rebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti: “Mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti:
7
‘Njiggira ensolo, onfumbire ennyama ey'akaloosa, ngirye, ndyoke nkuwe omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’
8
Kale kaakano mwana wange, wulira bye ŋŋamba, era okole bye nkulagira.
9
Genda mu kisibo ky'embuzi, ondeetereyo embuzi ento ennungi bbiri, nzirongoose, nfumbire kitaawo ennyama ey'akaloosa nga bw'ayagala,
10
ggwe ogimutwalire alye, alyoke akuwe omukisa nga tannafa.”
11
Naye Yakobo n'agamba Rebbeeka nnyina nti: “Omanyi nga muganda wange Esawu musajja wa bwoya, naye olususu olwange luweweevu.
12
Oboolyawo taata anankwatako, n'azuula nga mmulimba, ne nneereetako okukolimirwa, mu kifo ky'okuweebwa omukisa.”
13
Nnyina n'amugamba nti: “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange, naye wulira kye nkugamba, ogende ondeetere embuzi.”
14
N'agenda n'azikwata, n'azireetera nnyina, nnyina n'afumba ennyama ey'akaloosa nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala.
15
Rebbeeka n'aggyayo ebyambalo ebya Esawu omwana we omukulu, ebisinga obulungi, bye yali aterese mu nnyumba, n'ayambaza Yakobo omwana we omuto.
16
N'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo, ne ku nsingo awatali bwoya.
17
N'akwasa omwana we Yakobo ennyama ey'akaloosa, n'emmere bye yali afumbye.
18
Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'agamba nti: “Taata!” N'addamu nti: “Nzuuno. Ggwe ani, mwana wange?”
19
Yakobo n'agamba kitaawe nti: “Nze Esawu, omwana wo omuggulanda. Nkoze nga bwe wandagidde. Golokoka, otuule olye ku nnyama gye njizze, olyoke ompe omukisa.”
20
Yisaaka n'agamba mutabani we nti: “Ogizudde otya amangu bw'otyo, mwana wange?” Yakobo n'addamu nti: “Mukama Katonda wo annyambye.”
21
Yisaaka n'agamba Yakobo nti: “Kale sembera wano, nkuweeweeteko, mwana wange, mmanye oba nga ddala gwe mwana wange Esawu.”
22
Yakobo n'asemberera Yisaaka kitaawe, Yisaaka n'amuweeweetako, n'agamba nti: “Eddoboozi lya Yakobo, naye emikono gya Esawu!”
23
N'atamutegeera, kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng'egya muganda we Esawu. Yali anaatera okumuwa omukisa
24
n'amugamba nti: “Ddala ggwe mwana wange Esawu?” N'amuddamu nti: “Nze wuuyo.”
25
Yisaaka n'agamba nti: “Nsembereza ebyo by'oyizze, mwana wange, ndye ndyoke nkusabire omukisa.” Yakobo n'abimusembereza, n'alya. Era n'amuleetera n'omwenge ogw'emizabbibu n'anywa.
26
Awo Yisaaka kitaawe n'amugamba nti: “Sembera onnywegere, mwana wange!”
27
N'asembera, n'amunywegera, Yisaaka n'awunyirwa akawoowo k'ebyambalo bye. N'amuwa omukisa, n'agamba nti: “Akawoowo ak'omwana wange kali ng'akawoowo ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa.
28
Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, era agimusenga ennimiro zo. Akuwenga eŋŋaano nnyingi n'omwenge ogw'emizabbibu mungi.
29
Abantu bakuweerezenga, n'amawanga gakuvuunamirenga. Ofugenga baganda bo n'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga. Buli akukolimira akolimirwenga, era buli akusabira omukisa, naye gumuweebwenga.”
30
Awo Yisaaka bwe yali nga yaakamala okusabira Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava awali Yisaaka kitaawe, Esawu muganda we n'ayingira ng'ava okuyigga.
31
Era naye n'afumba ennyama ey'akaloosa, n'agitwalira kitaawe. N'agamba kitaawe nti: “Taata, golokoka olye ku nnyama nze omwana wo gye njizze, olyoke ompe omukisa.”
32
Yisaaka kitaawe n'amugamba nti: “Ggwe ani?” N'addamu nti: “Nze Esawu omwana wo omuggulanda.”
33
Yisaaka n'akankana nnyo nnyini, n'agamba nti: “Kale oyo abadde ani eyayizze ensolo n'andeetera ennyama ne ngirya, nga tonajja, ne mmuwa omukisa? Era ddala gulimuweebwa.”
34
Esawu bwe yawulira kitaawe by'ayogedde, n'atema emiranga n'akaaba nnyo olw'okunakuwala, n'agamba kitaawe nti: “Taata, nkwegayiridde, nange mpa omukisa.”
35
Yisaaka n'agamba nti: “Muganda wo azze n'alimba, n'atwala omukisa gwo.”
36
Esawu n'agamba nti: “Si kyeyava ayitibwa Yakobo? Lyamutuukira ddala bulungi, kubanga guno omulundi gwakubiri ng'atwala ekifo kyange. Yanzigyako obukulu bwange, ne kaakano laba anzigyeeko omukisa gwange.” Awo n'agamba nti: “Nze tonterekeddeeyo ku mukisa?”
37
Yisaaka n'addamu nti: “Mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babenga baweereza be, era mmuwadde eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu. Kale kiki kye nnaakukolera ggwe mwana wange?”
38
Esawu n'awanjagira kitaawe nti: “Olina omukisa gumu gwokka, taata? Mpa nange omukisa, ayi kitange!” N'aleekaana nnyo, n'akaaba.
39
Awo Yisaaka kitaawe n'amuddamu nti: “Ennimiro zo teziibengamu bugimu, era toofunenga musulo oguva mu ggulu.
40
Oneeyimirizangawo na kitala kyo, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw'olyesumattula, olyeyambula ekikoligo kye mu bulago bwo.”
41
Esawu n'akyawa Yakobo, olw'omukisa kitaawe gwe yamuwa. Esawu n'agamba mu mutima gwe nti: “Ennaku ez'okukungubagira kitange ng'afudde, zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, nditta muganda wange Yakobo.”
42
Rebbeeka bwe yawulira ebyo Esawu omwana we omukulu by'ateesa okukola, n'atumya Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti: “Laba muganda wo, ateesa okukutta, alyoke yeemale ekiruyi.
43
Kale kaakano, mwana wange, kola kye nkugamba. Situka, oddukire ewa mwannyinaze Labani mu kibuga Harani,
44
obeere naye okumala akaseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana,
45
ne yeerabira kye wamukola. Olwo ndituma ne nkuggyayo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
46
Rebbeeka n'agamba Yisaaka nti: “Obulamu bwange bwetamiddwa abakazi Abahiiti! Yakobo bw'aliwasa omukazi Omuhiiti, obulamu bwange buliba bukyangasa ki?”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50