bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 6
Genesis 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 7 →
1
Abantu bwe baatandika okweyongera obungi ku nsi, era nga bazadde abaana ab'obuwala,
2
abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi, ne bawasaamu be baayagala.
3
Mukama n'agamba nti: “Sijja kuleka bantu kuwangaala mirembe na mirembe, kubanga ba kufa. Banaawangaalanga emyaka egitasukka mu kikumi mu abiri.”
4
Mu biro ebyo, ne mu biseera ebyaddirira, waaliwo abantu abawagguufu, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu. Abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.
5
Mukama bwe yalaba ng'abantu boonoonese nnyo ku nsi, era nga balowooza bibi byereere mu mitima gyabwe bulijjo,
6
ne yejjusa olw'okubatonda n'okubateeka ku nsi. N'anakuwala,
7
n'agamba nti: “Nja kusaanyaawo ku nsi abantu be natonda, nsaanyeewo n'ensolo era n'ebinyonyi, kubanga nejjusizza okulaba nga nabikola.”
8
Wabula n'asiima Noowa.
9
Bino bye bifa ku Noowa: Noowa yali mutuukirivu, nga taliiko ky'anenyezebwa mu mulembe gwe. Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda. Bano be baana be yazaala:
10
yazaala Seemu ne Haamu ne Yafeeti.
11
Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, era n'ejjula eby'obukambwe.
12
Katonda n'atunuulira ensi, n'alaba ng'eyonoonese, kubanga buli muntu yali ayonoonye obulamu bwe ku nsi.
13
Katonda n'agamba Noowa nti: “Nsazeewo okuzikiriza abantu bonna, kubanga ensi ejjudde eby'obukambwe bye bakola. Kale nja kubazikiririza wamu n'ensi.
14
Weekolere eryato mu mbaawo ennungi, olisalemu ebisenge, olisiige envumbo munda ne kungulu.
15
Likole nga lya mita kikumi mu asatu mu ssatu obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi, ne mita kkumi na ssatu obugulumivu.
16
Lizimbe nga lya kalina ssatu, oteekeko eddirisa ng'oleseeyo sentimita amakumi ana mu nnya okuva waggulu, era oliteekeko omulyango mu mbiriizi zaalyo.
17
Nja kuleeta omujjuzo gw'amazzi ku nsi okuzikiriza buli kiramu kyonna. Buli kintu ku nsi kijja kufa.
18
Naye ndikola naawe endagaano. Oliyingira mu lyato, ggwe ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe.
19
Oliyingiza mu lyato ekisajja n'ekikazi ekya buli kiramu ekirina omubiri, biwonere wamu naawe.
20
Oliyingiza buli kika eky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ensolo n'eky'ebyewalula ku ttaka. Olibiyingiza bibiri bibiri biwone okufa.
21
Otwalanga n'otereka ku buli kika kya mmere eyiyo gy'olirya, ne ku buli kika kya mmere eyaabyo.”
22
Noowa n'akola byonna Katonda bye yamulagira okukola.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50