bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 43
Genesis 43
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 44 →
1
Enjala n'eba nnyingi mu nsi.
2
Awo bwe baamala okulya eŋŋaano yonna, gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'agamba nti: “Muddeeyo mutugulire ku kamere.”
3
Yuda n'amugamba nti: “Omusajja yatulabulira ddala nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’
4
Bw'onokkiriza muganda waffe okugenda awamu naffe, tunaagenda ne tukugulira emmere.
5
Naye bw'otoomukkirize, tetujja kugenda kubanga omusajja yatugamba nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’ ”
6
Yisirayeli n'agamba nti: “Lwaki mwandeetera omutawaana ogwenkanidde awo, okubuulira omusajja nti mulinayo muganda wammwe omulala?”
7
Ne baddamu nti: “Omusajja yatubuuza nnyo ku bitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti: ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti: ‘Muleete muganda wammwe?’ ”
8
Yuda n'agamba Yisirayeli nti: “Omulenzi mukwase nze, tusituke tugende, tulyoke tube balamu; ffe naawe, n'abaana baffe abato, enjala ereme kututta.
9
Nze nneeyamye okumukuuma. Olimubuuza nze. Bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna.
10
Singa tetuludde, kaakano twandibadde twagenda dda era nga tukomyewo n'omulundi ogwokubiri.”
11
Awo Yisirayeli kitaawe n'abagamba nti: “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi, ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, ku by'akawoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, ne ku binyeebwa eby'omu ttaka n'eby'oku miti.
12
“Era mutwale ensimbi za mirundi ebiri, muzzeeyo n'ezo ezazzibwa ku mimwa gy'ensawo zammwe. Oboolyawo nga baazizza mu butanwa.
13
Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja.
14
Katonda Omuyinzawaabyonna abakwatirwe ekisa nga muli mu maaso g'omusajja, omusajja alyoke abaddize muganda wammwe omulala, ne Benyamiini. Nze oba ndi wa kufiirwa baana bange, ndibafiirwa.”
15
Awo abooluganda ne batwala ebirabo n'ensimbi za mirundi ebiri, ne basitula, ne baserengeta e Misiri, nga bali wamu ne Benyamiini. Ne beeyanjula mu maaso ga Yosefu.
16
Yosefu bwe yalaba Benyamiini nga ali wamu nabo, n'agamba omuwanika we nti: “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo, kubanga bajja kuliira wamu nange ekyemisana.”
17
Omusajja n'akola nga Yosefu bwe yamulagira, n'atwala abooluganda mu nnyumba ya Yosefu.
18
Abooluganda ne batya olw'okuleetebwa mu nnyumba ya Yosefu. Ne bagamba nti: “Batuleese muno, olw'ensimbi ezazzibwa mu nsawo zaffe ku mulundi ogwasooka, alyoke atuvunaane, atufubutukire, atunyageko endogoyi zaffe, era atufuule abaddu be.”
19
Awo ne basemberera omuwanika wa Yosefu, ne boogera naye, nga bali ku mulyango gw'ennyumba.
20
Ne bagamba nti: “Ssebo, twajjako wano okugula emmere omulundi ogwasooka.
21
Bwe twatuuka mu kifo we twasula nga tuddayo eka, ne tusumulula ensawo zaffe, ne tusanga ensimbi za buli omu nga ziri ku mumwa gw'ensawo ye, era tuzikomezzaawo.
22
Tuleese n'ensimbi endala okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe.”
23
Omuwanika n'agamba nti: “Temweraliikirira, temutya. Katonda wa kitammwe ye yabateeramu ensimbi ezo mu nsawo zammwe. Nafuna ensimbi zammwe ze mwasasula.” N'abaggyirayo Simyoni.
24
Omuwanika n'atwala abooluganda abo mu nnyumba ya Yosefu, n'abawa amazzi ne banaaba ebigere, era n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya.
25
Ne bateekateeka ebirabo eby'okuwa Yosefu ng'azze gye bali mu ttuntu, kubanga baali babagambye nti banaaliira eyo awamu naye ekyemisana.
26
Yosefu bwe yajja, baganda be ne bamuleetera mu nnyumba ebirabo bye baali nabyo, ne bamuvuunamira.
27
N'ababuuza nti: “Muli mutya?” Era n'agamba nti: “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu? Ali bulungi?”
28
Ne baddamu nti: “Omuweereza wo kitaffe akyali mulamu, era ali bulungi.” Ne bamuvuunamira, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
29
Awo Yosefu n'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamiini muganda we, omwana wa nnyina, n'agamba nti: “Oyo ye muganda wammwe asembayo obuto gwe mwambuulirako?” N'agamba Benyamiini nti: “Katonda akukwatirwe ekisa, mwana wange!”
30
Yosefu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we. N'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.
31
Bwe yamala okunaaba mu maaso, n'afuluma, ne yeefuga, n'agamba nti: “Musoosootole emmere.”
32
Yosefu ne bamusoosootolera yekka, ne baganda be ne babasoosootolera bokka, n'Abamisiri abaalya ku kijjulo ekyo nabo ne babasoosootolera bokka, kubanga Abamisiri tebaliira wamu na Beebureeyi. Ekyo kya muzizo mu Bamisiri.
33
Abooluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yosefu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunulaganako, ne beewuunya.
34
Yosefu n'ababegera ku mmere eyali mu maaso ge. Ekitole kya Benyamiini ne kisinga obunene emirundi etaano ku buli kimu ku by'abalala bonna. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yosefu.
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50